Bwe tuba nga tuli ku ludda lw’ensolo, tujja kufuna akabonero ak’ensolo, ekiretera okubonereza kwa geyena. Tujja kufuna akabonero k’obulokozi okuva ewa Katonda bwe tutegeera era n’okukkiriza okunyweevu mu Kristo Ahnsahnghong, erinya epya erya Kristo, era ne Yerusaleemi omupya Maama owomuggulu.
Baibuli erangirira nti omulimu ogw’amaanyi ogwa Katonda, kujja kubeera kuteeka kabonero ku byenyi bya baana be, okuva ku nkomerero y’ensi okuva mu nsi eya Korea, enjuba gy’eviirayo, okuyitira mu biragiro bye nga kw’otadde n’Okuyitako.
Ne guyimirira ku musenyu gw’ennyanja. Ne ndaba ensolo ng’eva mu nnyanja. . . . n’ogusota gwe gwagiwa amaanyi gaayo, n’entebe yaayo ey’obwakabaka n’obuyinza obungi. . . .N’ewaliriza bonna, . . .okuweebwa enkovu ku mukono gwabwe ogwa ddyo oba ku byenyi byabwe, era omuntu yenna aleme okuyinza okugula newankubadde okutunda, wabula oyo amaze okuteekebwako akabonero, erinnya ly’ensolo oba omuwendo gw’erinnya lyayo.
Okubikkulirwa 13:1–17
Ne ndaba malayika omulala ng’alinnya okuva ebuvanjuba, ng’alina akabonero ka Katonda omulamu, nayogerera waggulu n’eddoboozi ddene ng’agamba bamalayika abana abaweebwa okwonoona ensi n’ennyanja ng’ayogera nti Temwonoona nsi, newankubadde emiti, okutuusa lwe tulimala okuteeka akabonero ku baddu ba Katonda waffe ku byenyi byabwe.
Okubikkulirwa 7:2-3
119 Bundang P.O.Box, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of KOREA
Tel 031-738-5999 Fax 031-738-5998
Head Office: 50, Sunae-ro, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of Korea
Main Church: 35, Pangyoyeok-ro, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of Korea
ⓒ World Mission Society Church of God. All rights reserved. Privacy Policy