“Addamu okuzimba ekibuga Yeriko, alifiirwa
omwana we ow’obulenzi omubereberye n’omwana we ow’obulenzi omuto .”
Obunnabbi bwa Yoswa tebwabula ne bwe wayitawo
emyaka 500 naye byonna byatuukirizibwa.
Mu ngeri y’emu, buli bunnabbi obuwandiikiddwa
mu Baibuli butuukirizibwa, ka bubeere nga butono.
“Abantu mu nsi yonna bajja kujja
mu Kkanisa ya Katonda okuyiga
enjigiriza za Katonda Nnyaffe.”
Leero, abantu basobola okulaba nti ebigambo
bya Kristo Ahnsahnghong ebikwata ku kitiibwa
kya Nnyaffe Yerusaalemi ow’omu Ggulu bituukirizibwa.
Kiva ku kuba nti ebigambo bye bwe
bunnabbi bwa Baibuli Katonda bwe yalagula
edda ng’ayita mu ba Nnabbi bangi nga Isaaya,
Yeremiya, Ezeekyeri , Zekkaliya, n’Omutume Yokaana.
Era ekisinga obunywevu tulina ekigambo kya bannabbi;
mukola bulungi okukiraba ekyo, ng’ettabaaza eyakira mu
kifo eky’ekizikiza, . . . nti buli kigambo ekya bannabbi
ekyawandiikibwa tekitegeeza kukoma kw’oyo yekka.
Kubanga siwali kigambo kya bannabbi ekyali kireeteddwa
mu kwagala kw’abantu: naye abantu baayogeranga ebyava
eri Katonda, nga bakwatiddwa Omwoyo Omutukuvu.
2 Peetero 1:19–21
119 Bundang P.O.Box, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of KOREA
Tel 031-738-5999 Fax 031-738-5998
Head Office: 50, Sunae-ro, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of Korea
Main Church: 35, Pangyoyeok-ro, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of Korea
ⓒ World Mission Society Church of God. All rights reserved. Privacy Policy