Katonda agamba nti, “Toyongerako
wadde okuggyako ebigambo bya Baibuli,”
era mu Baibuli, kyawandiikibwa nti
abantu basobola okulokolebwa nga
bagenda eri Omwoyo n’Omugole, abawa
amazzi ag’obulamu.
N’olwekyo, Ekkanisa ya Katonda,
ekkiririza mu Katonda Omwoyo
Omutukuvu, Kristo Ahnsahnghong, ne
Katonda Maama, nga ye Mugole,
y’ekkanisa Katonda gy’asanyukira era
ejja okulokolebwa.
Omutume Pawulo yawandiika mu Baibuli
nti abaana ab'Ekisuubizo be basigaddewo
abaalondebwa olw’ekisa era nti
abagenda okulokolebwa be baana
ab’okusuubiza nga Isaaka. Kitegeeza nti
abo abakkiriza Katonda Maama mu
mulembe ogw’Omwoyo Omutukuvu bajja
kufuuka abaana b’ekisuubizo nga Isaaka
n’abasigaddewo abaalondebwa ekisa kya
Katonda basobole okulokolebwa.
Naye ffe, ab'oluganda, tuli baana ba
kusuubiza nga Isaaka bwe yali.
Abaggalatiya 4:28
Era Isaaya ayogerera waggulu ebya
Isiraeri nti Omuwendo gw'abaana ba
Isiraeri oba guliba ng'omusenyu
gw'ennyanja, ekitundu ekirisigalawo kye
kirirokoka.
Abaruumi 9:27
119 Bundang P.O.Box, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of KOREA
Tel 031-738-5999 Fax 031-738-5998
Head Office: 50, Sunae-ro, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of Korea
Main Church: 35, Pangyoyeok-ro, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of Korea
ⓒ World Mission Society Church of God. All rights reserved. Privacy Policy