Baibuli ne Famire ey’omu Ggulu
Baibuli Kigambo kya Katonda Ekituusa mu Bulokozi, Era Tewali Alina Kwongerako oba Okuggyako Kintu Kyonna
Ebisaanyizo by’okuyingira mu bwakabaka obw’omu ggulu bya abo bokka abakola Katonda by’ayagala. Baibuli bwe bubaka bwa Katonda obw’obulokozi eri abantu bonna, obwawandiikibwa bannabbi abaakubirizibwa Omwoyo Omutukuvu okuwandiika by’ayagala. Eno y’ensonga lwaki Katonda yalagira nti tetulina kwongera ku bigambo byayo oba okubiggyako.
Lwaki Ekkanisa ya Katonda Ekkiririza mu Katonda Kitaffe ne Katonda Nnyaffe?
Mu Baibuli, Katonda ayogerwako mu bungi, so si mu bumu, emirundi nga 2,500. Ekirala, Baibuli ewa obujulizi nti nga maama bw’ali mu nsi y’ebimera n’ensi y’ebisolo ebyatondebwa okusinziira ku Katonda by’ayagala, bwe kityo ne mu bwakabaka obw’omu ggulu, waliwo Katonda Nnyaffe, awa obulamu obutaggwaawo, era awo we wali amaka gaffe ag’omu ggulu ag’omwoyo.
Kale, "Muve wakati w’abo, mweyawule, bw’ayogera Mukama, So temukomanga ku kintu ekitali kirongoofu; Nange ndibasembeza,"
Era, "nnaabeeranga Kitammwe gye muli, Nammwe munaabeeranga gye ndi abaana ab’obulenzi n’ab’obuwala, bw’ayogera Mukama Omuyinza w’ebintu byonna."
2 Abakkolinso 6:17–18
Naye Yerusaalemi eky’omu ggulu kye ky’eddembe, ye nnyaffe.
Abaggalatiya 4:26
No. of views84
#Bible
#Obedience