Ebitundu 73% ku nsi bibikkiddwa amazzi.
Ebitundu ebisukka mu 70% eby’omubiri gw’omuntu nago mazzi.
Tewali kintu kyonna ku nsi kiyinza kubeera nga tekirina mazzi.
Kyokka ennaku zino, ensi, pulaneti y’amazzi, efuna ebbula ly’amazzi olw’ekyeya eky’amaanyi ekimala ebbanga eddene.
Kabonero akalabula eri okubeerawo kw'abantu.
Singa tufiirwa amazzi ebitundu 5% mu mibiri gyaffe, tugenda mu kkoma; singa tufiirwa amazziagasukka mu 10%, tujja okufa. Amazzi ye nsibuko y’obulamu.
Mu ngeri y’emu, singa emyoyo gyaffe tegiweebwa mazzi ga bulamu —ekigambo kya Katonda,
tujja kubonaabona olw’ennyonta ey’omwoyo era tuzikirire ku nkomerero. Kati, ensi yonna ebonaabona olw’ekyeya eky’omwoyo (Am 8:11).
Mu Bulaaya, abantu batono bokka abagenda mu kkanisa, era amakanisa gaabwe gakozesebwa
ku lw'ebintu ebirala
Mu Amerika, amakanisa gakyamukiriza abakkiriza n’okukyamukiriza kwa ngeri nnyingi
Lwaki abantu bava mu makanisa, wadde nga balina ennyonta?
Kiva ku kuba nti amakanisa tegabawa mazzi ga bulamu.
Mu mulembe gw’ennyonta ey’omwoyo, Baibuli egamba nti Omwoyo n’Omugole bituwa amazzi ag’obulamu.
Era Omwoyo n'omugole boogera nti Jjangu. Naye awulira ayogere nti Jjangu. Naye alina ennyonta ajje: ayagala atwale amazzi ag'obulamu buwa.
(Okubikkulirwa 22:17).
Abakulembeze b'abakulisitayo abamu bagamba nti omugole “kkanisa” oba “abakkiriza.”
Abakkiriza ababonaabona n’ekyeya eky’omwoyo, nga tebasobola kuwuliriza kigambo kya
Katonda, oba ekkanisa nga kye kibiina kyabwe, tebasobola kuwa mazzi ga bulamu.
Emyaka enkumi bbiri emabega, abantu bwe baafuna ekyeya eky’omwoyo, Katonda mu mubiri ye yabawa amazzi ag’obulamu.
Baibuli eragula nti ne mu kiseera kino, Katonda ajja mu mubiri n’atuwa amazzi ag’obulamu,
nga bwe kyali emyaka enkumi bbiri emabega.
Era Omwoyo n'omugole boogera nti Jjangu. Naye awulira ayogere nti Jjangu. Naye alina ennyonta ajje: ayagala atwale amazzi ag'obulamu buwa.
(Kub 22:17).
Okusinziira ku Busatu, Omwoyo ategeeza Katonda Kitaffe.
Kale, Omugole wa Katonda Kitaffe y’ani?
Baibuli etugamba nti Omugole ye Yerusaalemi ow’omu ggulu (Okubikkulirwa 21:9–10;
Abaggalatiya 4:26), era nti ye Nnyaffe.
Abantu okusobola okuwulira ekigambo ky’obulamu, Katonda Maama yandizze mu ngeri ki?
Nga Katonda Kitaffe bwe yajja mu kifaananyi ky’omuntu okutuwa amazzi g’obulamu emyaka enkumi bbiri emabega, ne mu mulembe guno, Katonda Maama azze mu kifaananyi ky’omuntu n’atuwa amazzi ag’obulamu.
Katonda yekka y’asobola okuwa amazzi ag’obulamu — ekigambo kya Katonda ekizuukiza emyoyo — mu mulembe gwa Kitaffe, ogw'omwana era kati ogw’Omwoyo Omutukuvu.
Nsaba mujje mu Kkanisa ya Katonda ekkiririza mu kujja okw'okukubiri okwa Kristo
Ahnsahnghong ne Katonda Maama, abawa amazzi ag’obulamu era bafune obulokozi.
119 Bundang P.O.Box, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of KOREA
Tel 031-738-5999 Fax 031-738-5998
Head Office: 50, Sunae-ro, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of Korea
Main Church: 35, Pangyoyeok-ro, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of Korea
ⓒ World Mission Society Church of God. All rights reserved. Privacy Policy