Mu byafaayo by’emigaati etaano n’ebyennyanja bibiri,
Katonda yagamba nti omugaati ogw’ekyamagero
ogwaliisa abantu enkumi etaano mmere eyonoona.
Ekirala, Yagamba nti emmaanu ey’ekyamagero
eyaweebwa mu lugendo lw’emyaka 40 mu ddungu
mmere eyabaletela okufa wadde nga baagirya.
Kyokka olw’okuba ekituufu ky’omugaati gw’Okuyitako
ye Yesu, yagamba nti eno y’emmere
egaba obulamu obutaggwaawo.
Mu nsi ey’ebyamagero, tewali kiyinza
kukolebwa n’obusobozi bw’omuntu.
Mu ddungu, abakessi ekkumi baanoonyereza
ku Kanani, nga balowooza ku ebyo
byokka bye baali basobola okukola.
Kyokka Yoswa ne Kalebu balowooza
Ku Katonda ky’ayinza okukola.
Okufaananako Yoswa ne Kalebu, Ekkanisa
ya Katonda ebuulira enjiri y’endagaano empya
mu nsi yonna, okusinziira ku maanyi
ga Kristo Ahnsahnghong ne Katonda Nnyaffe.
Nze mmere ey'obulamu. Bajjajja mmwe
baalya emmaanu mu ddungu, ne bafa.
Eno ye mmere eva mu ggulu,
omuntu yenna gyayinza okulya, aleme okufa. Nze
mmere ennamu eyava mu ggulu:
omuntu bw'alya ku mmere eno
aliba mulamu emirembe n'emirembe:
[Yokaana 6:48–51].
119 Bundang P.O.Box, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of KOREA
Tel 031-738-5999 Fax 031-738-5998
Head Office: 50, Sunae-ro, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of Korea
Main Church: 35, Pangyoyeok-ro, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of Korea
ⓒ World Mission Society Church of God. All rights reserved. Privacy Policy