Gidyoni ye yali owa wansi mu famire ye eyali eggwa mu kikka ekisingayo obunafu mu bikka byonna ebya Isiraeli. Naye ate yasobola okumegga Abamidyani 135,000 n’abalwanyi 300 nga agondera ekigambo kya Katonda. Musa ne Yoswa nabo bawangula Abamaleki nga bagondera ekigambo kya Katonda, mu ngeri yemu, obuwanguzi mu mbeera zonna buva mu kukiririza mu buyambi bwa Katonda era n’okumugondera.
Nga Isaaya bweyasuubiza, “Katonda ajja kufuula abatono eggwanga ery’amaanyi,” abo abakitegeera nti buli kimu ku nsi eno kimalirizibwa okusinzira ku nteekateeka ya Katonda era ne bagondera ekigambo kya Katonda, ne mu birabika nga ebitono, bajja kuweebwaemikkisa.
N’amugamba nti, “Ai Mukama wange, “. . . Laba, Baganda bange be basinga okuba abaavu mu Manase,”nange ndi muto mu nnyumba ya Kitange.” Mukama n’amugamba nti,
“Mazima ndibeera wamu naawe, era olikuba Abamidyaani ng’omuntu omu.”
Ekyabalamuzi 6:15–16
“Era n’abantu bo banaabanga batuukirivu bonna, balisikira ensi okutuusa emirembe gyonna.
Ettabi nze lye nnasimba, omulimu gw’engalo zange ndyoke mpeebwe ekitiibwa.
Omuto alifuuka lukumi, n’omutono alifuuka ggwanga lya maanyi.
Nze Mukama; ndikyanguya ebiro byakyo nga bituuse.”
Isaaya 60:21–22
119 Bundang P.O.Box, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of KOREA
Tel 031-738-5999 Fax 031-738-5998
Head Office: 50, Sunae-ro, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of Korea
Main Church: 35, Pangyoyeok-ro, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of Korea
ⓒ World Mission Society Church of God. All rights reserved. Privacy Policy