Abo abatagondera tebasobola kuyingira mu
bwakabaka obw’omu ggulu, nga ye nsi ya Kanani, nga bwekirabibwa mu byafaayo
by’Endagaano Enkadde.
Okuyita mu byafaayo bino, tusobola okulaba
engeri Kabaka Zeddekiya gye yali
omuwulize mu kusooka naye oluvannyuma
n’akyuka n’adda mu bujeemu, n’engeri
Kabaka Sawulo gye yali omuwulize ekitundu
n’ekitundu omujeemu, awamu n’abantu
abajeemera okuva ku lubereberye. Abantu
bano tebasobola kulokolebwa, naye abo
abagoberera Omwana gw’endiga wonna
w’agenda n’obuwulize bajja kulokolebwa.
Christ Ahnsahnghong, eyajja ng’Omwana
gw’Endiga, yakakasa okuyita mu Baibuli nti
abo abagondera ekigambo kya Katonda bajja
kugenda mu ggulu. Yaleka enjigiriza ze eri
abantu, ng’agamba nti, “Bw’onoogondera
mu bujjuvu enjigiriza za Katonda Nnyina,
ebintu ebirungi bingi bye wali tosuubira bijja
kubaawo.”
Ekiragiro kyonna kye nkulagira leero
munaakikwatanga okukikola, mulyoke
mubenga abalamu, mwalenga, muyingire
mulye ensi Mukama gye yalayirira bajjajja
bammwe. . . . akutoowaze akukeme,
okumanya ebyali mu mutima gwo, oba
ng'ogenda okwekuumanga ebiragiro bye oba
si weewaawo.
Ekyamateeka 8:1–2
Era baani be yalayirira obutayingira mu
kiwummulo kye, wabula obo abataagonda?
Era tulaba nga tebaayinza kuyingira
olw'obutakkiriza.
Abebbulaniya 3:18–19
119 Bundang P.O.Box, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of KOREA
Tel 031-738-5999 Fax 031-738-5998
Head Office: 50, Sunae-ro, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of Korea
Main Church: 35, Pangyoyeok-ro, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of Korea
ⓒ World Mission Society Church of God. All rights reserved. Privacy Policy