Adamu ne Kaawa baagondera ebigambo bya Sitaani, ne balya ekibala ekyagaanibwa, ne bagobebwa mu Lusuku Edeni. Kabaka Sawulo yagoberera okwagala kwa bantu, ng’atwala ekigambo kya Katonda ng’ekintu ekitono, era n’agobebwa ku ntebe.
Mu ngeri y’emu, mu mulembe guno, Omwoyo Omutukuvu asobola okuweebwa abo bokka abagondera ekigambo kya Katonda.
Bwe tugondera ebigambo bya Katonda, Omwoyo Omutukuvu abeera naffe bulijjo, era tubeera n’obulamu obw’omukisa.
Engeri abantu bonna gye batatuukiridde, tulina okugoberera ekkubo lya Katonda erituukiridde n’obuwulize okutuusa ku nkomerero okusobola okubeera n’obulamu obw’obuwanguzi era n’okujjuzibwa Omwoyo Omutukuvu nga bajjajjaffe ab’okukkiriza.
"Naffe ffe bajulirwa b'ebigambo ebyo, era n'Omwoyo Omutukuvu, Katonda gwawade abo abamugondera.
Ebikolwa 5:32
119 Bundang P.O.Box, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of KOREA
Tel 031-738-5999 Fax 031-738-5998
Head Office: 50, Sunae-ro, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of Korea
Main Church: 35, Pangyoyeok-ro, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of Korea
ⓒ World Mission Society Church of God. All rights reserved. Privacy Policy