Katonda bwe yalonda eggye lya Gidyoni, yagaana abo abaali batya.
Buli kiseera yagumyanga eggye lya Yoswa obutatya.
Okuyita mu kino, tusobola okulaba nti ekisinga obukulu kwe kukkiririza
mu bisuubizo bya Katonda n’okugenda mu maaso n’obuvumu.
Nga Abayisirayiri abatakkiriza mu bisuubizo bya Katonda, ne basaasaanya
lipoota embi, ne beemulugunya ku Kanani, bwe tunaalonzalonza olw’okuba tutya
abantu n’obutonde bw’ensi, tetujja kusobola kuyingira mu bwakabaka
obw’omu ggulu, Kanani ow’omwoyo. Bwe tunaabuulira n’obuvumu enjiri
ey’obwakabaka obw’omu ggulu, nga tukkiririza mu kisuubizo Kristo
Ahnsahnghong ne Katonda Nnyina kye bawadde okutuwa omukisa, omulimu
ogw’ekitalo ogw’enjiri ogujja okwewuunyisa ensi yonna gujja kubaawo.
“Ekitabo kino eky’amateeka tekiivenga mu kamwa ko,
naye onookirowoozangamu emisana n’ekiro,
olyoke weekuumenga okukola nga byonna bwe
biri ebiwandiikiddwamu: kubanga
bw’onooterezanga bw’otyo ekkubo lyo, era bw’onooweebwanga omukisa
bw’otyo. Si nze nkulagidde? Ddamu amaanyi, guma omwoyo;
totyanga, so teweekanganga: kubanga MUKAMA
Katonda wo ali naawe buligy’onoogendanga yonna.”
Yoswa 1:8–9
119 Bundang P.O.Box, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of KOREA
Tel 031-738-5999 Fax 031-738-5998
Head Office: 50, Sunae-ro, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of Korea
Main Church: 35, Pangyoyeok-ro, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of Korea
ⓒ World Mission Society Church of God. All rights reserved. Privacy Policy