Nga birigi bwetekebwa ku kizimbe okulaba oba nga kizimbiddwa buterevu oba nedda, Katonda awa abaana be okugezesebwa okulaba oba nga bazimba ennyumba zaabwe ez’okukkiriza mu buterevu nga Katonda bwe yakola Yobu, Shadrach, Meshach, ne Abednego. Naye, emikkisa gye buli kiseera jigoberera mu nkomerero.
Kristo Ahnsahnghong ne Katonda Maama basomeseza Baganda baffe abazimba enju zaabwe ez’okukkiriza leero nti Katonda bwagezesa ensi yonna, ajja kugezesa ebigambo bya buli muntu, ebikolwa, n’emitima era aleete ebibamba eri abo abatalina kukkiriza abemulugunya. Era batusomeseza buli kadde okulowooza ku Ggulu era ne Katonda yekkane bwetubeera mu mbeera ki.
Bw’atyo bwe yandaga kale laba: Mukama n’ayimirira ku mabbali g’ekisenge ekyazimbibwa
n’omugwa ogugera, mu mukono gwe. . . . Mukama n’ayogera nti, “laba, nditeeka omugwa ogugera wakati w’abantu bange Isiraeri; siribayitako nate lwakubiri.”
Amosi 7:7–8
“Era n’abaana be ndibatta n’olumbe. Ekkanisa zonna ne zitegeera nga nze nzuuyo akebera emmeeme n’emitima, era ndiwa buli muntu mu mmwe ng’ebikolwa byammwe bwe biri.”
Okubikkulirwa 2:23
119 Bundang P.O.Box, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of KOREA
Tel 031-738-5999 Fax 031-738-5998
Head Office: 50, Sunae-ro, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of Korea
Main Church: 35, Pangyoyeok-ro, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of Korea
ⓒ World Mission Society Church of God. All rights reserved. Privacy Policy