Bwe tutategeera bulungi nteekateeka ya Katonda
ey’obulokozi ne tugezaako okugikola n’okwagala kwaffe,
tetusobola kuyingira mu Kanani ow’omu ggulu
ng’Abaisiraeri abaazikirizibwa mu ddungu.
Ensonga lwaki Baibuli eyita Nuuwa,
Ibulayimu, Musa, ne Yoswa bajjajja
b’okukkiriza eri nti baali bakkiririza mu
nteekateeka ya Katonda ey’obulokozi era ne
bakola okusinziira ku nteekateeka eyo yokka.
Enjiri y’endagaano empya ey’Ekkanisa ya
Katonda yatandika ng’ekkanisa entono ng’ekisenge kya Makko ekya waggulu.
Naye okusinziira ku nteekateeka y’obulokozi eri
abantu Katonda gye yassaawo okuva ku
ntandikwa, ebuulirwa mu nsi yonna, omuli
Alaska ne Sertung
mu nsozi za Himalaya.
“Alanga enkomerero okuva ku lubereberye,
n’ebigambo ebitannakolebwa okuva ku biro eby’edda; ayogera nti
Okuteesa kwange kulinywera era ndikola bye njagala
byonna: . . . nayogera, n’okutuukiriza
ndikituukiriza; nateesa, n’okukola ndikikola.
Isaaya 46:10–11
119 Bundang P.O.Box, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of KOREA
Tel 031-738-5999 Fax 031-738-5998
Head Office: 50, Sunae-ro, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of Korea
Main Church: 35, Pangyoyeok-ro, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of Korea
ⓒ World Mission Society Church of God. All rights reserved. Privacy Policy