Nga Abraham Lincoln bwe yatangaaza
abaserikale mu kiseera ky’olutalo lw’omunda mu Amerika,
bwe tusaba Katonda nti, “Nsaba obeere ku ludda
lwange,” tetusobola kumanya oba tuli mu kkubo ettuufu
oba mu kkubo ekyaamu.
N’olwekyo, okusobola okulokolebwa,
twetaaga okusaba nti, “Nkwegayiridde,
buli kisera ka mbeere ku ludda lwa Katonda”
Eriya yayolekagana ne bannabbi
ab’obulimba 850, era mikwano gya Danyeri abasatu
tebaavunnamira kifaananyi ekya zaabu.
Abraham yafuuka jjajja w’okukkiriza,
era Nuuwa n’ayitibwa omusika
w’obutuukirivu.
Abantu bano buli kiseera baali ku ludda lwa
Katonda. Mu ngeri y’emu, mu mulembe
gw’Omwoyo Omutukuvu, ba memba b’Ekkanisa ya
Katonda, abakkiriza Katonda
Ahnsahnghong ne Katonda Maama,
basaba nti buli kiseera babeere
ku ludda lwa Katonda mu buli mbeera ejja
ku kkubo ery’okukkiriza.
Mukope Katonda ng’abaana abaagalwa
ennyo era mubeere n’obulamu obw’okwagala,
nga Kristo bwe yatwagala . . .
Ab’efeeso 5:1–2
119 Bundang P.O.Box, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of KOREA
Tel 031-738-5999 Fax 031-738-5998
Head Office: 50, Sunae-ro, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of Korea
Main Church: 35, Pangyoyeok-ro, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of Korea
ⓒ World Mission Society Church of God. All rights reserved. Privacy Policy