okukuuma endagaano empya nga olunaku
lwa Ssabbiiti n’Okuyitako, waliwo okwagala
kwe okw’amaanyi okufaananako nga Katonda
bwe yagamba Adamu ne Kaawa mu
Lusuku Adeni nti, “Temulya ku muti
ogw’okumanya obulungi n’obubi” okusobola okubawa omukisa.
Kirimu okwagala okusembayo okuwa abantu
emikisa okuyita mu ndagaano empya.
Singa twesigama ku bumanyirivu n’okumanya
kwaffe kwokka ne tutwala ebigambo bya
Katonda ng'ebya wansi, ebizibu n’emikisa
emibi bijja kutugoberera ku nkomerero.
Kristo Ahnsahnghong ne Katonda Nnyaffe batuyigirizza
nti ekigambo kya Katonda bwe tunaakitwala
ng’eky’omuwendo nga Danyeri, Saddulaaki, Mesaki
ne Abeduneego bwe baakola, tujja kufuna
emikisa n’ekitiibwa ebijja okwewuunyisa ensi.
Ekiragiro kyonna kye nkulagira leero
munaakikwatanga okukikola, mulyoke mubenga abalamu,
mwalenga, muyingire mulye ensi Mukama
gye yalayirira bajjajja bammwe.
Ekyamateeka 8:1
Awo olunaatuukanga, bw'onoonyiikiranga okuwulira eddoboozi
lya Mukama Katonda wo, okukwata ebiragiro
bye byonna bye nkulagira leero, okubikolanga,
Mukama Katonda wo anaakugulumizanga okusinga
amawanga gonna agali ku nsi:
Ekyamateeka 28:1
119 Bundang P.O.Box, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of KOREA
Tel 031-738-5999 Fax 031-738-5998
Head Office: 50, Sunae-ro, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of Korea
Main Church: 35, Pangyoyeok-ro, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of Korea
ⓒ World Mission Society Church of God. All rights reserved. Privacy Policy