Mu biseera by’Endagaano Enkadde, Ekifo ekitukuvu ennyo Essanduuko y’Endagaano mwe yakuumirwanga kyalina obuwanvu, obugazi, n’obugulumivu bwe bumu.
Ekibuga Ekitukuvu Yerusaalemi mu ggulu ekigazi era waggulu nga bwe kiri ekiwanvu kikiikirira Omugole, Katonda Maama. Ye nsibuko y’amazzi g’obulamu era ye kituufu ky’ekifo ekitukuvu ennyo.
Nga Katonda bwe yatonda eggulu n’ensi ne buli kimu ekirimu n’ekigambo kye ku ntandikwa, naffe tulina okukkiriza nti ebigambo, “Funa Omwoyo Omutukuvu,” ebyaweebwa ku lunaku olw’enkomerero olw’embaga y’Eweema nabyo birina amaanyi.
Bwe tubuulira enjiri n’okukkiriza kuno, omulimu gw’Omwoyo Omutukuvu ow’enkuba ey’oluvannyuma asinga amaanyi omulimu gw’Omwoyo Omutukuvu ogwatuukirira mu Kanisa eyasooka gujja kubaawo.
Ne wajja omu ow’oku bamalayika omusanvu . . . n’ayogera nange, ng’agamba nti, “Jjangu, nnaakulaga omugole, mukazi w’Omwana gw’endiga.” . . . n’andaga ekibuga ekitukuvu Yerusaalemi nga kikka okuva mu ggulu ewa Katonda. . . . obuwanvu n’obugazi n’obugulumivu bwakyo nga bwenkanankana.
Okubikkulirwa 21:9–16
119 Bundang P.O.Box, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of KOREA
Tel 031-738-5999 Fax 031-738-5998
Head Office: 50, Sunae-ro, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of Korea
Main Church: 35, Pangyoyeok-ro, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of Korea
ⓒ World Mission Society Church of God. All rights reserved. Privacy Policy