Ibulayimu, Nuuwa, Musa, ne Danyeri baaweebwa emikisa
kubanga baagondera ekigambo kya Katonda, ka
kibeere nti baayolekagana na mbeera ki ezitasoboka.
Ebyafaayo ng’ebyo ebya Baibuli biraga nti tulina
okuba n’okukkiriza okunywevu mu kubeerayo
kwa Katonda, ka kibeere mu mbeera ki.
Abaisiraeri baali basobola okuyingira
mu Kanani mu nnaku kkumi.
Kyokka baayingirayo oluvannyuma lw’emyaka 40 ne basaanawo
mu ddungu oluvannyuma lw’okwemulugunya engeri nti
essira baalitadde ku biriwo
mu maaso gaabwe byokka.
Kyava ku butakkiriza bwabwe.
Mu ngeri y’emu, leero, ekisinga obukulu mu
ddungu ery’okukkiriza nga twolekera Kanani ey’omu
ggulu kwe kuba n’okukkiriza okujjuvu mu bigambo
bya Katonda Ahnsahnghong ne Katonda Maama.
Okukkiriza kye kinyweza ebisuubirwa, kye
kitegeereza ddala ebigambo ebitalabika.
Kubanga abakadde baategeerezebwa mu okwo.
Olw'okukkiriza tutegeera ng'ebintu byonna byakolebwa
kigambo kya Katonda, era ekirabika kyekyava
kirema okukolebwa okuva mu birabika.
Abebbulaniya 11:1–3
119 Bundang P.O.Box, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of KOREA
Tel 031-738-5999 Fax 031-738-5998
Head Office: 50, Sunae-ro, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of Korea
Main Church: 35, Pangyoyeok-ro, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of Korea
ⓒ World Mission Society Church of God. All rights reserved. Privacy Policy