Tulina okunoonya Katonda kubanga eby’okuddamu
eri ebizibu ebiri mu bulamu
bwaffe bulijjo Katonda y’abituwa.
Ensonga lwaki Dawudi, Yekosafaati, ne
Keezeekiya babeerawo mu bulamu obw’omukisa era
obw’obuwanguzi, yali nti baali beesigamye
ku Katonda, so si ku
bantu oba ku bintu eby’ensi.
Katonda yawandiika ebyafaayo eby’emabega mu Baibuli
ku lwaffe ababeera mu mulembe guno.
Katonda yali wamu n’abantu be
buli kiseera— Yeriko bwe yawangulwa era
Ennyanja Emmyufu n’eyawulwamu.
Nga tujjukira kino, ba memba b’Ekkanisa
ya Katonda bulijjo beesigama ku
Katonda mu mbeera yonna enzibu.
Era bw'atyo Keezeekiya bwe yakola ne
mu Yuda yonna; n'akola ebyo ebyali
mu maaso ga Mukama Katonda we
ebirungi era eby'ensonga era eby'obwesigwa.
N'omulimu gwonna gwe yatandika mu
kuweereza okw'omu nnyumba ya Katonda
ne mu mateeka ne mu biragiro
okunoonya Katonda we n'agukola n'omutima
gwe gwonna, n'alaba omukisa.
2 Ebyomumirembe 31:20–21
Awo bangi ne baleetera Mukama ebirabo
e Yerusaalemi, n'ebintu eby'omuwendo omungi
eri Keezeekiya kabaka wa Yuda:
n'okugulumizibwa n'agulumizibwa mu maaso g'amawanga
gonna okuva ku lunaku olwo.
2 Ebyomumirembe 32:23
119 Bundang P.O.Box, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of KOREA
Tel 031-738-5999 Fax 031-738-5998
Head Office: 50, Sunae-ro, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of Korea
Main Church: 35, Pangyoyeok-ro, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of Korea
ⓒ World Mission Society Church of God. All rights reserved. Privacy Policy