Tusobola okumanya engeri okukkiriza kwaffe gye kuli okulungi nga tugondera ekigambo kya Katonda.
Gy’okoma okuwangaala mu mazima, obuwulize bwaffe n’okukkiriza kwaffe gye kulina okukoma okuba okuwanvu.
Kyokka bwe tukola nga bwe twagala nga Kabaka Sawulo bwe yakola, Katonda ajja kuzaayo ekisa kye kyonna kye yali atuwadde.
Kristo Ahnsahnghong, eyajja ng’Omulokozi mu mulembe gw’Omwoyo Omutukuvu, yalaba buli kimu okuva ku ntandikwa okutuuka ku nkomerero y’omulembe era n’akola omulimu gw’obulokozi eri abantu bonna.
N’olwekyo, ba memba b’Ekkanisa ya Katonda bakkiriza ebigambo bye era ne babigondera mu mbeera zonna nga Ibulayimu ne Gidiyoni.
"Laba, okugonda kusinga ssaddaaka obulungi, n'okuwulira kusinga amasavu g'endiga ennume.
Kubanga okujeema kuliŋŋanga ekibi eky'obufumu, n'obukakanyavu buliŋŋanga okusinza ebifaananyi ne baterafi. Kubanga ogaanyi ekigambo kya Mukama, naye akugaanyi okuba kabaka.
1 Samwiri 15:22–23
119 Bundang P.O.Box, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of KOREA
Tel 031-738-5999 Fax 031-738-5998
Head Office: 50, Sunae-ro, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of Korea
Main Church: 35, Pangyoyeok-ro, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of Korea
ⓒ World Mission Society Church of God. All rights reserved. Privacy Policy