Ebintu ebisanyusa Katonda
biwandiikiddwa mu bitabo bya Lukka,
Abebbulaniya, Yeremiya, ne Engero.
Kwe kwenenya kw’omwonoonyi,
okukkiriza okutuufu, okukakasa ku Katonda,
n’abo amakubo gaabwe agataliimu
kunenyezebwa. Katonda yatuyigiriza nti
bino byonna bisobola okutuukirira
nga tuyita mu mulimu gw’okubuulira
ogutuusa abantu bangi mu bulokozi.
Abaana ku nsi eno bawa bazadde
baabwe ebirabo ebisanyusa n’omutima
gwabwe gwonna. Mu ngeri y’emu,
abaana ab’omu ggulu bakola ekyo
ekisinga okusanyusa Kitaffe ow’omu
Ggulu Kristo Ahnsahnghong ne
Katonda Maama. Nga Yesu bwe
yalagira emyaka 2,000 egyayita, emitima gyabwe
gyonna bagiteeka mu kunoonya ba memba ba famire
ey’omu ggulu abaabula.
[K]ubanga edda mwali kizikiza, naye
kaakano muli musana mu Mukama
waffe: mutambulenga ng'abaana b'omusana (kubanga ebibala
by'omusana biri mu bulungi bwonna
n'obutuukirivu n'amazima), nga mukeberanga
Mukama waffe ky'ayagala bwe kiri;
Ab’efeeso 5:8–10
[A]yagala abantu bonna okulokoka,
era okutuuka mu kutegeerera ddala amazima.
1 Timoseewo 2:4
119 Bundang P.O.Box, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of KOREA
Tel 031-738-5999 Fax 031-738-5998
Head Office: 50, Sunae-ro, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of Korea
Main Church: 35, Pangyoyeok-ro, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of Korea
ⓒ World Mission Society Church of God. All rights reserved. Privacy Policy