Katonda yanunula Musa n’Abayisirayiri okuva mu Misiri olw’amaanyi g’Embaga ey’Okuyitako. Abaisiraeri baali bamaze emyaka 38 nga tebakuza Okuyitako, naye baakwata Embaga ey’Okuyitako nga tebannayingira mu nsi ya Kanani. Okuyitira mu Okuyitako okw’endagaano empya, Yesu yennyini yajja n’awa abantu obulamu obutaggwaawo. Okuyita mu bintu bino, tusobola okukiraba nti Embaga ey’Okuyitako kiragiro kikulu abantu bonna kye balina okuyigira ku bakitaabwe.
Leero, Kristo Ahnsahnghong azzeemu Okutuyigiriza Okuyitako okw’Endagaano empya, eyali emaze emyaka 1,260 nga tekuumibwa, era wansi w’obulagirizi bwa Katonda Maama, ba memba b’Ekkanisa ya Katonda okwetoloola ensi yonna bagikuuma nga ntukuvu. Kino kiri bwe kityo kubanga omukisa ogw’ekitalo ogw’okufuuka abaana ba Katonda guli mu Mbaga ey’Okuyitako.
“Bw'onokkiriza okunoonyeza ddala Katonda Ne weegayirira Omuyinza w'ebintu byonna,Singa obadde mulongoofu era wa mazima, Teyandiremye nno okukuzuukukira, N'awa omukisa ekifo omubeera obutuukirivu bwo. Okusooka kwo newakubadde nga kwali kutono, Naye enkomerero yo ey'oluvannyuma yandyeyongedde nnyo. Kubanga buuza ab'emirembe egyasooka, nkwegayiridde, okenneenye ebyo bajjajjaabwe bye baanoonyeza ddala.”
Yobu 8:5–8
[A]bayigirizwa ne bajja eri Yesu, ne bagamba nti, “Oyagala tuteekereteekere wa Okuyitako gy'onookuliira? ... n'atoola omugaati,...”guno gwe mubiri gwange”…”Munywe ku kino mwenna; kubanga kino gwe musaayi gwange ogw'endagaano, oguyiika ku lw'abangi olw'o4kuggyawo ebibi.
Matayo 26:17–28
119 Bundang P.O.Box, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of KOREA
Tel 031-738-5999 Fax 031-738-5998
Head Office: 50, Sunae-ro, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of Korea
Main Church: 35, Pangyoyeok-ro, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of Korea
ⓒ World Mission Society Church of God. All rights reserved. Privacy Policy