Nga Adamu ne Kaawa bwe baayonoona
olw’okwerabira etteeka lya Katonda nti,
“Tolyanga ku muti ogw’okumanya obulungi
n’obubi,” buli lwe twerabira etteeka lya
Katonda, tukola ekibi ne tufuna obutyabaga.
Ne mu mulembe guno, Katonda agamba
nti akatyabaga akasembayo kajja kujja
kubanga ensi yeerabidde amateeka ga
Katonda —olunaku lwa Ssabbiiti n’Okuyitako
okw’endagaano empya, era tebabikwata.
Abantu myoyo [bamalayika] abaayonoona mu
ggulu ne basuulibwa wansi ku nsi eno.
Basobola okudda mu ggulu nga
bagondera ekigambo kya Katonda nga
babeera ku nsi eno.
Nga Kabaka Keezeekiya bwe yafuna emikisa
ng’akuuma amateeka [Okuyitako] okusinziira
ku kigambo kya Katonda, Ekkanisa ya
Katonda egondera Katonda by’ayagala ng’ekuuma
etteeka lya Katonda —endagaano empya.
Weekuumenga oleme okwerabira Mukama Katonda
wo, obuteekuumanga biragiro bye n’emisango
gye n’amateeka ge bye nkulagira leero:
Ekyamateeka 8:11
Buli muntu aŋŋamba nti Mukama wange,
Mukama wange, si ye aliyingira mu
bwakabaka obw’omu ggulu, wabula akola
Kitange ali mu ggulu by’ayagala.
Bangi abaliŋŋamba ku lunaku luli nti
Mukama waffe, Mukama waffe, tetwalagulanga
mu linnya lyo, . . . tetwakolanga bya
magero bingi mu linnya lyo?
. . . Sibamanyangako mmwe: muve we ndi
mwenna abakola eby’obujeemu.
Matayo 7:21–23
119 Bundang P.O.Box, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of KOREA
Tel 031-738-5999 Fax 031-738-5998
Head Office: 50, Sunae-ro, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of Korea
Main Church: 35, Pangyoyeok-ro, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of Korea
ⓒ World Mission Society Church of God. All rights reserved. Privacy Policy