Omuti ogw’okumanya ekirungi n’ekibi guvaamu okufa,
era omuti ogw’obulamu guleeta obulamu obutaggwaawo.
Mu lusuku Edeni, Adamu ne Kaawa
baagobebwa ne basisinkana okufa kubanga baalya
ku muti ogw’okumanya ekirungi n’ekibi.
Ebyafaayo bino biraga nti abantu bateekeddwa
okufa kubanga baayonoona mu ggulu.
Emyaka enkumi bbiri emabega, Yesu yajja ku
nsi ku lw’obulokozi bw’abantu, era mu mulembe
gw’Omwoyo Omutukuvu, Kristo Ahnsahnghong yajja
ku nsi eno, era n’atuwa obulamu obutaggwaawo
okuyita mu mbaga ey’Okuyitako ey’endagaano empya,
nga kino kye kituufu ky'omuti ogw’obulamu.
Ekirala, Kristo Ahnsahnghong, eyaleeta omuti
ogw’obulamu, ye Muwolereza wa Sayuuni
eyalangirirwa mu kitabo kya Mikka.
Atumanyisa nti obulokozi obw’enkomerero obwa bantu
businziira ku Katonda Nnyaffe.
Mukama Katonda n'ayogera nti Laba, omuntu afuuse
ng'omu ku ffe, okumanyanga obulungi n'obubi; kaakano,
aleme okugolola omukono gwe okunoga ku muti
ogw'obulamu, okulya okuwangaalanga emirembe n'emirembe;
Olubereberye 3:22
Awo Yesu n'abagamba nti Ddala ddala
mbagamba nti Bwe mutalya mubiri
gwa Mwana wa muntu ne munywa
omusaayi gwe, temulina bulamu mu mmwe.
Alya omubiri gwange, era anywa
omusaayi gwange, alina obulamu obutaggwaawo; . . .
Yokaana 6:53–54
119 Bundang P.O.Box, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of KOREA
Tel 031-738-5999 Fax 031-738-5998
Head Office: 50, Sunae-ro, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of Korea
Main Church: 35, Pangyoyeok-ro, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of Korea
ⓒ World Mission Society Church of God. All rights reserved. Privacy Policy