Ebitonde byonna bifuna obulamu nga biyita mu ba maama baabyo.
Ekitonde ne bwe kibeera kitono kitya era nga tekirina makulu, maama alina okwagala kwa ba maama okw’okwewaayo okukisobozesa okuwaayo obulamu bwakyo olw’abaana baakyo.
Lwaki Katonda yatonda ebintu byonna bifune obulamu okuyitira mu ba maama baabyo?
Era lwaki ba maama, ne ba maama b’ebitonde ebiringa ebitali bya mugaso, by
onna bilina okwagala kwa ba maama?
Katonda, eyatonda ebintu byonna olw’okwagala kwe, yatubikkulira ekkubo ery’okufuna obulamu obutaggwaawo, okuyita mu musingi gw’okuzaalibwa ku nsi eno n’okuyita mu mpisa ez’ekitiibwaeza Katonda Maama.
Ebintu byonna ebiramu bisobola okuwangaala ebbanga lyokka ng’obulamu bwe bifunye okuva ku ba maama baabyo.
Kale, tusobola okufuna obulamu obutaggwaawo nga tuyita mu Nnyaffe ow’omwoyo.
Ekyo kiri bwe kityo kubanga Katonda Maama yekka, alina obulamu obutaggwaawo, y’asobola okutuwa obulamu obutaggwaawo.
Mu mulembe guno, tulina okufuuka abaana ba Katonda Maama okufuna obulamu obutaggwaawo.
Jjangu mu Kkanisa ya Katonda ekkiririza mu Katonda Maama!
119 Bundang P.O.Box, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of KOREA
Tel 031-738-5999 Fax 031-738-5998
Head Office: 50, Sunae-ro, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of Korea
Main Church: 35, Pangyoyeok-ro, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of Korea
ⓒ World Mission Society Church of God. All rights reserved. Privacy Policy