Endagaano empya y’efuula abantu, Katonda be yatonda, okuba ab’omuwendo ennyo.
Amazima ag’endagaano empya kye Ky’obugagga eky’omu ggulu ne bamalayika abali mu ggulu kye beegomba okutunuulira.
Katonda amazima gano agawadde abantu ab’omu ggulu bokka abasobola okusikira obwakabaka obw’omu ggulu.
Abo abalina omubiri n’omusaayi gwa Katonda nga balya n’okunywa omugaati gw’okuyitako Ne viini ey’okuyitako , Katonda bye yagamba nti Bikoleddwa mu Katonda, basobola okufuuka abaana ba Katonda.
Basobola okufuna okusonyiyibwa okw’ebibi N’omukisa ogw’obulamu obutaggwaawo mu Sayuuni Kristo Ahnsahnghong ne Katonda Maama gye babeera.
“Laba, ennaku zijja,” bw'ayogera MUKAMA, lwe ndiragaana endagaano empya n'ennyumba ya Isiraeri n'ennyumba ya Yuda: . . . nditeeka amateeka gange mu bitundu byabwe eby'omunda, era mu mutima gwabwe mwe ndigawandiikira; nange naabanga Katonda waabwe, nabo banaabanga bantu bange:
Yeremiya 31:31–33
Awo Yesu n'abagamba nti, “Ddala ddala mbagamba . . . Alya omubiri gwange, era anywa omusaayi gwange, alina obulamu obutaggwaawo, nange ndimuzuukiriza ku lunaku olw'enkomerero.”
Yokaana 6:53–54
119 Bundang P.O.Box, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of KOREA
Tel 031-738-5999 Fax 031-738-5998
Head Office: 50, Sunae-ro, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of Korea
Main Church: 35, Pangyoyeok-ro, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of Korea
ⓒ World Mission Society Church of God. All rights reserved. Privacy Policy