Nga bwe waliwo famire ku nsi eno,
era waliwo ne famire ey’omu ggulu eri mu ggulu.
Ennyama n’omusaayi gwa Katonda bisuubizibwa
mu mbaga ey’Okuyitako ey’endagaano empya.
Okuyitira mu mbaga eno ey’Okuyitako, bamemba be kkanisa
ya Katonda baafuuka batabani ne bawala ba Katonda Kitaffe
ne Katonda Nnyaffe, ne bafuuka famire ey’omu ggulu.
Ba memba ba famire ey’omu ggulu abatuufu balabirira
banaabwe era ne beegatta wamu waleme kubaawo muntu yenna awulira ng’ali yekka.
Era, batambulira wamu ekkubo erigenda mu bwakabaka
obw’omu ggulu, nga banywezebwa n’ekigambo kya Katonda.
Abaweereza eby’ekifaananyi n’ekisiikirize eky’ebyo eby’omu ggulu, . . .
Abebbulaniya 8:5
Omulembe gw’ebyuma bi kalimagezi (AI) gusembedde.
Kyokka, Katonda njiri tagikwasizza byuma bi kalimagezi
okuwa abaana be emikisa.
Katonda yatangaaza abaana be okuzuula amangu
bamemba ab’omumaka ag’omu ggulu abaabula era
bayingirire wamu obwakabaka obw’ekitiibwa obw’omu ggulu.
119 Bundang P.O.Box, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of KOREA
Tel 031-738-5999 Fax 031-738-5998
Head Office: 50, Sunae-ro, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of Korea
Main Church: 35, Pangyoyeok-ro, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of Korea
ⓒ World Mission Society Church of God. All rights reserved. Privacy Policy