Omutume Yokaana bwe yalaba embeera ey’omukisa omubi nti
abantu bonna baali bagenda kugenda mu geyena, yakaaba.
Kyokka omu ku bakadde n’amugamba nti, “Mu biseera eby’omu maaso, Ekikolo kya Dawudi kijja kuggulawo Bayibuli
eyassibwako akabonero era awonye abantu.”
Christ Ahnsahnghong yabatizibwa ku
myaka 30, okusinziira ku bulamu bwa
Dawudi, n’amaliriza emyaka 37
egyasigalayo, era n’abikkula endagaano
empya n’ebyama bya Baibuli
ebiteekeddwako akabonero, nga
mw’otwalidde n’amazima ga Nnyaffe ow’omu Ggulu.
Okuva ebyama bya Baibuli bwe bisobola okubikkulwa
Dawudi yekka, abantu balina okusisinkana Dawudi.
kristo Ahnsahnghong, eyajja nga Dawudi, yayigiriza abantu ku
bwakabaka obw’omu ggulu obutaggwaawo, mu kifo ky’ensonga z’obulamu buno
obw’akaseera obuseera. Ate era, yayigiriza
okubeerawo kwa Katonda Maama, Kaawa
ow’omwoyo, abadde akwekeddwa munda mu
nteekateeka ya Katonda.
N’olwekyo amawanga gonna gakulukuta okugenda mu
Kkanisa ya Katonda eyo Katonda Maama
gy’abeera.
Nange ne nkaaba nnyo amaziga, kubanga
tewaalabika eyasaanira okwanjuluza ekitabo,
newakubadde okukitunuulira: omu ku bakadde n'aŋŋamba nti
“Tokaaba: laba, Empologoma ow'omu kika kya Yuda,
ekikolo kya Dawudi, yawangula,
okwanjuluza ekitabo n'obubonero bwakyo omusanvu.
Okubikkulirwa 5:4–5
Era ng'abantu bwe baterekerwa okufa omulundi ogumu, oluvannyuma
lw'okwo musango; era ne Kristo bw'atyo, bwe
yamala okuweebwayo omulundi ogumu
okwetikka ebibi by'abangi, alirabika
omulundi ogw'okubiri awatali kibi eri abo
abamulindirira, olw'obulokozi.
Abebbulaniya 9:27–28
119 Bundang P.O.Box, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of KOREA
Tel 031-738-5999 Fax 031-738-5998
Head Office: 50, Sunae-ro, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of Korea
Main Church: 35, Pangyoyeok-ro, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of Korea
ⓒ World Mission Society Church of God. All rights reserved. Privacy Policy