Ensi yonna ekuza amazaalibwa ga Yesu ku Kurisimansi (Dec. 25).
Kyokka, olunaku lw’amazaalibwa ga Yesu terulimu mu Baibuli.
Kigamba bugamba nti abasumba, abaali bakuuma ebisibo byabwe mu nnimiro, baatendereza Yesu. (Lk 2:8)
Tekisoboka kukuuma bisibo mu nnimiro mu kiseera eky’obutiti ekinyogovu.
Ddala Yesu yazaalibwa nga Dec. 25?
Abakurisitayo abaasooka tebaakuza mazaalibwa ga Yesu.
Olwo Kurisimansi yasibuka ludawa?
December 25, Kurisimansi . . .
“December 25 SI mazaalibwa ga Yesu, wabula ga katonda wa njuba.
Kurisimansi yasibuka ku mbaga ey’ekikaafiiri ey’enjuba etaawangulwa.”[Ekitabo ekiyitibwa Encyclopedia Britannica]
'Kiki? Kurisimansi yasibuka ku mbaga ey’ekikaafiiri?’
“Mu Rooma ey’edda, waaliwo embaga eyitibwa Saturnalia okuva nga 17 December okutuuka nga 24.” [Ebyafaayo mu kkanisa yabakrisitayo]
“Mu kiseera ky’embaga eno, abantu beenyigiranga mu kusanyuka awatali kufaayo Ku bugagga oba ekifo omuntu kyalimu” [Ebyafaayo mu kkanisa yabakrisitayo]
'Nedda! Kino kisoboka kitya!!! Kurisimansi nga Dec. 25, si mazaalibwa ga Yesu!!!’
“Dec. 25, ennaku we zitandikira okuwanvuyira, lwali lutwalibwa ng’amazaalibwa ga katonda Mithra.” [Encyclopedia Britannica]
Nga beekwasa eky'okumenya enzikiriza mu Mithra, Ekkanisa ya ba Katoliki ey’e Rooma yanyumirwa nnyo embaga eno ng’ekyusa “amazaalibwa ga katonda w’enjuba” ne gafuuka amazaalibwaga Yesu. [Ekya Golden Bough James G. Frazer]
Omuti gwa Kurisimansi gwasibuka mu mukolo gw’ekikaafiiri ogw’okusinza emiti. [Ekitabo ekiyitibwa Encyclopedia Britannica]
Ekifaananyi kya Santa Claus ng’alina ekirevu ekyeru, mu ssuuti emmyufu, kyakolebwa mu 1931ku lwa kalango ka Coca-Cola. [Ekifaananyi kya Haddon Sundblom]
Amakanisa gamanyi bulungi nti kuriy si mazaalibwa ga Yesu.
Kyokka bakyalimba nti Kurisimansi mazaalibwa ga Yesu.
Abakrisitayo bali mu nzikiza ddala ku nsonga eno.
“Oluvannyuma lwa AD 354 Kurisimansi lwe yakuzibwa nga Dec.25.” [World Book Encyclopedia]
Oluvannyuma lw’omwaka gwa AD 354? Abayigirizwa ba Yesu n’abatume be tebaakuza Kurisimansi!
“kurisimansi teyateekebwawo Katonda, era teyeesigamiziddwa ku Baibuli.” [Cyclopedia y'Ebiwandiiko bya Baibuli, eby’Eddiini n’Eby’Ekkanisa]
Bakyusa amazaalibwa ga katonda w’enjuba ne gafuuka amazaalibwa ga Yesu!
Kino kyantiisa!
Baibuli egamba nti abantu bwe bakwata amateeka agakoleddwa abantu, babeera bamala biseera okusinza Katonda. (Mat 15:9)
Kiwandiikiddwa mu Baibuli emirundi mingi nnyo engeri Abaisiraeri gye baazikirizibwamu olw’okugoberera empisa z’ekikaafiiri! (Ez 11:8~12)
Mu Ddungu lya Sinaayi, baalowooza nti basinza Mukama Katonda nga basinza ekifaananyi. (Kuv 32:1~6)
Yerobowaamu, kabaka wa Isiraeri ey’obukiikakkono, yakuza embaga mu mwezi gumu gwe yalonda, ng’agamba nti asinza Katonda. (1By 12:25~33)
Naye, abo bona abasinza ebifaananyi, baazikirizibwa.
Mu ngeri y’emu, ne bwe bagamba nti basinza Yesu ku Kurisimansi, kuba kusinza bifaananyi.
Enkomerero y’okusinza ebifaananyi kwe kuzikirizibwa.
Ekkanisa ya Katonda eyatandikibwawo Ahnsahnghong Kristo eyajja omulundi ogw'okubiri, tekuza Kurisimansi, amazaalibwa ga katonda w'enjuba, agatasangibwa mu Baibuli.
119 Bundang P.O.Box, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of KOREA
Tel 031-738-5999 Fax 031-738-5998
Head Office: 50, Sunae-ro, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of Korea
Main Church: 35, Pangyoyeok-ro, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of Korea
ⓒ World Mission Society Church of God. All rights reserved. Privacy Policy