Olw’amaanyi ga Katonda, Abaisiraeri basumululwa okuva mu buddu obw’emyaka 430 mu Misiri, ne boolekera Kanani. Kyokka Abaisiraeri beerabira ekisa kya Katonda eyabasumulula. “Lwaki watuggya mu Misiri mu ddungu lino?” Abantu, abeemulugunya, balumwa emisota egy’obutwa ne bafa (Okubala 21:6).
Mukama n'agamba Musa nti Weekolere omusota, oguteeke ku muti: awo olunaatuuka, bulialumiddwa bw'anaagulaba, anaaba mulamu.Okubala 21:8
Olwo, omusota ogw’ekikomo gwe gwabawonya? Nedda. Katonda abalokola olw’ebigambo bye, “Omuntu yenna alumidwa asobola okugutunuulira n’abeera omulamu.” Wadde kyali kityo, Abaisiraeri baassa ekitiibwa mu musota ogw’ekikomo okumala ebikumi n’ebikumi by’emyaka, nga balowooza nti gulina amaanyi ag’ekyama.
Kabaka Keezeekiya bwe yamenya omusota ogw’ekikomo mu bitundutundu, Katondayamusiima, n’amufuula omuwanguzi mu buli kye yakola (2 Bassekabaka 18:3–7). Lwaki Katonda yasiima Keezeekiya eyamenya omusota ogw’ekikomo? Kiri lwakuba nti asinza ekifaananyi ajja kuzikirizibwa. Ebyafaayo by’okusinza omusota ogw’ekikomo bwali bunnabbi nti amakanisa gajja kukola emisalaba era gazikirizibwe.
Nga Musa bwe yawanika omusota mu ddungu, bwe kityo n'Omwana w'omuntu kimugwanira okuwanikibwa: . . . Yok 3:14–15
Omusalaba si gwe gwatuwonya, wabula Yesu (1 Pe 1:18–19). Kyokka leero, amakanisa gassa ekitiibwa mu musalaba, ng’Abaisiraeri bwe bassa ekitiibwa mu musota ogw’ekikomo. Omusalaba si kirala wabula ekitundu ky’omuti, ng’omusota ogw’ekikomo bwe gutali kirala wabula ekitundu ky’ekikomo (Ebikolwa 5:30). Amakanisa, agaateekawo emisalaba, gajja kuzikirizibwa (Ma 27:15).
"[N]ga lyogera nti Mukifulumemu, abantu bange, muleme okussa ekimu n'ebibi bye era muleme okuweebwa ku bibonyoobonyo bye: Okubikkulirwa 18:4
Nga tugoberera enjigiriza za Kristo Ahnsahnghong , Ekkanisa ya Katonda emanyisa abantu bonna nti eky'okulabirako ky'omusota ogw’ekikomo bunnabbi obulaga okusaekitiibwa mu musaalaba. Nsaba mujje mu Kkanisa ya Katonda, nga ye Sayuuni Katonda Nnyaffe, mulokozimu mulembe gw’Omwoyo Omutukuvu, gy’abeera, era mujja kusimattuka akatyabaga akasembayo era mufune obulokozi.
119 Bundang P.O.Box, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of KOREA
Tel 031-738-5999 Fax 031-738-5998
Head Office: 50, Sunae-ro, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of Korea
Main Church: 35, Pangyoyeok-ro, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of Korea
ⓒ World Mission Society Church of God. All rights reserved. Privacy Policy