Abantu abamu Baibuli bagitwala ng’ekitabo ky’ebyafaayo oba enfumo za Isiraeri kyokka. Kyokka, Baibuli kye kitabo ekisinga obukadde mu nsi yonna, ekyawandiikibwa mu biseera eby’enjawulo abantu ab'enjawulo abaali bakola emirimu egy’enjawulo mu mirembe egy'enjawulo okumala emyaka egisukka mu 1,600. Ekisinga okwewuunyisa kwe kuba nti buli kintu ekiwandiikiddwa mu myaka 1,600 kikwatagana ng’obunnabbi n’okutuukirira.
Mu biwandiiko bya Baibuli, ka tuyige obunnabbi obukwata ku Kabaka Cyrus n’okutuukirizibwa kwabwo. Kabaka Cyrus ye yatandikawo Obwakabaka bwa persia era ye yamega Orient. Ka tulabe obuwanguzi obunene bwe yatuukako obuwandiikiddwa mu Baibuli.
“Bw'atyo bw'ayogera Cyrus kabaka wa Persia nti Obwakabaka bwonna obw'omu nsi Mukama Katonda w'eggulu abumpadde; era ankuutidde okumuzimbira ennyumba mu Yerusaalemi ekiri mu Yuda.’ ” Ezr 1:2–3
Lwaki Cyrus kabaka wa persia yatendereza Katonda wa Isiraeri n’asumulula Abaisiraeri? Kabaka Cyrus yalaba erinnya lye nga liwandiikiddwa mu kitabo kya Isaaya ekyali kyawandiikibwa emyaka nga 170 nga tannasumulula Bayisirayiri.
“ ‘Bw'atyo MUKAMA bw'agamba oyo gwe yafukako amafuta, Cyrus, gwe nkutte ku mukono gwe ogwa ddyo, okujeemula amawanga mu maaso ge, . . . era ndikuwa obugagga obw'omu kizikiza n'ebintu ebyakwekebwa ebiri mu bifo eby'ekyama, olyoke omanye nga ndi MUKAMa akuyita erinnya lyo, Katonda wa Isiraeri.’ ” Is 45:1–3
Kabaka Cyrus yakitegeera nti Katonda yali amuyambye okuwangula Babilooni, era yasumulula Abaisiraeri nga bwe kyalangirirwa mu Baibuli. N’ekyavaamu, Kabaka Cyrus akyatenderezebwa abantu nga kabaka ow’edda eyasumulula abaddu era n’akkiriza eddembe ly’okubeera n’eddiini. Baibuli era yalangirira okuzaalibwa kwa Yesu ng’omwana emyaka nga 700 nga tannajja ku nsi.
“. . . laba, omuwala atamanyi musajja aliba olubuto, alizaala omwana wa bulenzi, era alituumwa erinnya lye Immanuel.’ ” Is 7:14
Okusinziira ku bunnabbi buno, Katonda yazaalibwa nga Yesu okuyitira mu mubiri gwa Maria embeerera (Mat 1:18–23). Ate era, Baibuli yalangirira mu bujjuvu engeri Yesu gyajja okubonsbonamu.
“. . . Yanyoomebwa n'agaanibwa abantu; . . . Naye yafumitibwa olw'okusobya kwaffe, yabetentebwa olw'obutali butuukirivu bwaffe: okubonerezebwa okw'emirembe gyaffe kwali ku ye; era emiggo gye gye gituwonya.” Is 53:3–5
Okusinziira ku bunnabbi buno, Yesu yafumitIbwa effumu n’akubwa emiggo (Mat 27:26–35; Yokaana 19:34). Wadde ng’obunnabbi bwa Baibuli tebwategeerwa bantu bwe bwawandiikibwa, byonna bituukiridde.
Kale Baibuli etulabula obutayisa bunnabbi mu ngeri ya kunyooma (1 Bas 5:20). Kiri lwakuba nti tetusobola kulokolebwa singa tunyooma obunnabbi bwa Baibuli. Nga obunnabbi bungi bwe butuukirira ddala nga bwe bwawandiikibwa, n’obunnabbi obusigaddeyo bwonna bujja kutuukirizibwa awatali kulemererwa.
“ ‘walibaawo n'ebikankano ebinene, ne mu bifo ebirala enjala ne kawumpuli; walibaawo n'ebitiisa n'obubonero obunene obuva mu ggulu.’ “ Lk 21:11
Baibuli etugamba nti tulina okuddukira mu Sayuuni okusobola okulokolebwa ng’akatyabaga akanene n’okuzikirizibwa okusembayo kuze.
“ ‘ “. . . Mukuŋŋaanye wamu . . .” ‘Musimbe ebendera okwolekera Sayuuni: mudduke muwone, temulwawo: kubanga ndireeta obubi obuliva obukiika obwa kkono n'okuzikiriza okunene.’ ” Yer 4:5–6
Sayuuni, embaga za Katonda gye zikuzibwa, kifo kya buddukiro n’obulokozi Katonda bwe yatusuubiza (Is 33:20). Mu nsi yonna, World Mission Society Ekkanisa Ya Katonda ye kkanisa yokka ekuza embaga za Katonda okusinziira ku njigiriza za Baibuli; ye Sayuuni.
119 Bundang P.O.Box, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of KOREA
Tel 031-738-5999 Fax 031-738-5998
Head Office: 50, Sunae-ro, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of Korea
Main Church: 35, Pangyoyeok-ro, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of Korea
ⓒ World Mission Society Church of God. All rights reserved. Privacy Policy