Emikisa gy ‘omuntu okuzaalibwa ng’omulamu, mu mubiri ogwa puloteni, giba mitono okusinga okuwangula empeera esooka eya kazanyo emirundi Makumi anamu lunyiriri.
Mu Baibuli yonna, ebigambo bya Katonda biwandiikibwa mu butuufu bungi, nga bikkaatiriza mu ngeri ey’ekimpatiira obutagattako oba okuggyako mu bigambo bye bwe tuba twagala okufuna obulamu obutaggwaawo.
Buli kintu Yesu n ‘abatume b’ Ekkanisa eyasooka kye bakuuma kyakuumibwa mu Kkanisa ya Katonda.
Omutume Pawulo ne Yokaana baagamba nti, “Mazima tulina Katonda Nnyaffe,” era batumanyisa nti Katonda Nnyaffe, ye Kaawa ow ‘Omwoyo, awa abantu obulamu obutaggwaawo.
Ntegeeza buli muntu awulira ebigambo eby’obunnabi obw’ekitabo kino nti Omuntu yenna bw’ayongerangako ku byo, Katonda alyongerako ku ye ebibonyoobonyo ebiwandiikiddwa mu kitabo kino: era omuntu yenna bw’aggyangamu mu bigambo . . .,
Katonda aliggyako omugabo gwe ku muti ogw’obulamu, ne mu kibuga ekitukuvu, ebiwandiikiddwa mu kitabo kino.
Okubikkulirwa 22:18–19
Katonda n’ayogera nti “Tukole omuntu mu ngeri yaffe, mu kifaananyi kyaffe, . . .”
Katonda n’atonda omuntu mu kifaananyi kye, mu kifaananyi kya Katonda mwe yamutondera; omusaja n’omukazi bwe yabatonda.
Olubereberye 1:26–27
119 Bundang P.O.Box, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of KOREA
Tel 031-738-5999 Fax 031-738-5998
Head Office: 50, Sunae-ro, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of Korea
Main Church: 35, Pangyoyeok-ro, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of Korea
ⓒ World Mission Society Church of God. All rights reserved. Privacy Policy