Bwe tutaba na kukkiriza,
embeera ezitwetoolodde zisigala
zigenda mu kkubo erikyamu,
naye bwe tuba n’okukkiriza,
buli kimu kitambula bulungi.
Tulina okutegeera omusingi
guno nga tuyita mu
Baibuli era tusuule
byonna ebitweraliikiriza, okutya,
n’okweraliikirira mu
bulamu bwaffe obw’okukkiriza.
Baibuli ewandiika omulimu
gwa Gidyoni, omulimu gwa
Yoswa, omulimu gw’okwawuzaamu
Ennyanja Emmyufu, n’omulimu
gw’emigaati etaano
n’ebyennyanja ebibiri.
Kyalabika ng’ekitasoboka eri
amaaso ag’omubiri, naye
Katonda yatuukiriza buli kimu.
Mu ngeri y’emu, singa
tukkiriza ebigambo bya
Kristo Ahnsahnghong ne
Katonda Maama n’enjigiriza
za Yesu nti enjiri
y’endagaano empya ejja
kubuulirwa eri ensi yonna,
buli kimu kijja kutuukirizibwa
okusinziira ku bigambo Byabwe.
Naye oyo abuusabuusa
azza musango bw'alya,
kubanga talya mu
kukkiriza; na buli ekitava
mu kukkiriza, kye kibi.
Abaruumi 14:23
Yesu n'amugamba nti.
“ ‘Oba ng'oyinza'?" "byonna
biyinzika eri akkiriza."
Makko 9:23
119 Bundang P.O.Box, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of KOREA
Tel 031-738-5999 Fax 031-738-5998
Head Office: 50, Sunae-ro, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of Korea
Main Church: 35, Pangyoyeok-ro, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of Korea
ⓒ World Mission Society Church of God. All rights reserved. Privacy Policy