Engeri ey’okuwonamu obutyabaga kwe kukuza Embaga ey’Okuyitako ey’Endagaano Empya.
Ekkanisa ya Katonda yokka eyatandikibwawo Kristo Ahnsahnghong eyajja omulundi ogw’okubiri nga bwe kyalangirirwa mu Baibuli, y’ekuza embaga ey’Okuyitako ey’endagaano empya okusinziira ku njigiriza za Baibuli.
Enkyukakyuka y’embeera y’obudde, musisi, omuyaga ogw’amaanyi, enjala, n’entalo zeyongera okugenda mu maaso, era n’okutta tekukoma. Singa obutyabaga buno bujja gyoli, osobola okubwewala?
Entalo! Enjala! Musisi! Kawumpuli!
Abantu abafiiriddwa abaana baabwe bakaaba, nga bayita amannya gaabwe. Abantu abali mu bigoyegoye era nga bafa enjala balya ttaka
era bayita mu kubonabona okw’amaanyi mu kasirise. Ffenna tukankana olw’okutya enkyukakyuka y’embeera y’obudde, musisi, omuyaga ogw’amaanyi, entalo, n’enjala, Kawumpuli, ebiyinza okututuukaka essaawa yonna.
Bambi wuliriza okukaaba kwaffe mu butyabaga! Ayi Katonda Omuyinza w’ebintu byonna, eyaggya Abayisirayiri mu butyabaga ng’oyitira mu mbaga ey’Okuyitako!
Bambi tusaasire era tumanyise engeri eyokuwonyezebwa okuva eri obutyabaga buno! Bambi tutaase!
Emyaka nga 3,500 emabega, akatyabaga akanene ak’okutta ababereberye bwe kaaleetebwa ku Misiri, famire ezaali zikuziza Embaga ey’Okuyitako nga zisala obuliga obw’omwaka ogumu era ne zisiiga omusaayi ku mabbali ne waggulu w’emiryango, tezaatuusibwako bulabe mu ngeri yonna.
Awo omusaayi gulibabeerera akabonero ku nnyumba ze mulimu: nange bwe ndiraba omusaayi, ndibayitako, so tewalibeera lumbe ku mmwe okubazikiriza, bwe ndikuba ensi ey’e Misiri. Kuv 12:11–14
Embaga ey’Okuyitako, akabonero ak’amaanyi ga Katonda, etukuuma okuva eri obutyabaga! Embaga ey’Okuyitako eyakuzibwa mu Misiri yali kisiikirize. Embaga ey’Okuyitako, Yesu gye yateekawo nga tannakomererwa, y’entuufu. (Lk 22:20; Mat 26:17)
Okuyitako okw’endagaano empya, mwe tuyinza okuyita okwetaba mu musaayi gwa Yesu ogw’omuwendo, erina okukuzibwa ne mu mulembe guno, nagwo. Kyokka mu Lukiiko lw’e Nicaea olwatuula mu mwaka gwa AD 325, Embaga ey’Okuyitako ey’endagaano empya, omusaayi gwa Yesu ogw’omuwendo mwe gusuubizibwa, yaggyibwawo ddala.
Ekirungi Katonda yagamba nti, “Mu kiseera kyayo nja kukikola mangu” (Isa 60:22), era ekiseera ekituufu kituuse era Okuyitako, amazima ga Katonda, gabikkuliddwa. kristo Ahnsahnghong eyajja omulundi ogwokubiri nga bwe kiralangirirwa mu Baibuli azeemu okuteekawo embaga ey’Okuyitako ey’endagaano empya.
“Mu nsi yonna, World Mission Society ekkanisa ya katonda (Omusumba Omukulu Kim Joo-cheol) yokka y’ekuza Okuyitako n’omugaati n’omwenge ng’ekyeggulo kya Yesu Kristo ekyasembayo.”
Ayi Katonda, katubuulire Embaga ey’Okuyitako ey’endagaano empya, engeri yokka ey’okwetaba mu musaayi gwa Yesu ogw’omuwendo, ensi yonna esobole okugikuza era ewonyezebwe okuva eri obutyabaga!
Bambi mujje mu Kkanisa ya Katonda, etekeddwaawo Kristo Ahnsahnghong eyajja omulundi ogwokubiri okusinziira ku bunnabbi bwa Baibuli, era mukuze Okuyitako okw’endagaano empya, awo mujja kuwonyezebwa okuva mu butyabaga era mujja kufuna obulamu obutaggwaawo.
119 Bundang P.O.Box, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of KOREA
Tel 031-738-5999 Fax 031-738-5998
Head Office: 50, Sunae-ro, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of Korea
Main Church: 35, Pangyoyeok-ro, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of Korea
ⓒ World Mission Society Church of God. All rights reserved. Privacy Policy