Emyaka 2,000 egyayita, Katonda Omutonzi yajja ku nsi eno mu linnya lya Yesu, n’atandikawo endagaano empya. Okuyita mu ndagaano empya, abaana ba Katonda, ababonaabona olw’ekibi n’okufa, basobola okufuna okusonyiyibwa ekibi n’obulamu obutaggwaawo. Okumala emyaka esatu, Yesu yawa abayigirizwa be ekyokulabirako eky’okukuuma endagaano empya.
Kubanga mbawadde ekyokulabirako, era nga bwe mbakoze nze, nammwe mukolenga bwe mutyo. Yok 13:15
Oluvannyuma lw’okuzuukira, Yesu yasaba abayigirizwa be okuyigiriza abantu bonna okukuuma endagaano empya basobole okulokolebwa. (Mat 28:19)
Nga bagoberera ebigambo bya Yesu abayigirizwa be baabuulira endagaano empya. Mu ndagaano empya, mwe tusobola okuyita okufuna okusonyiyibwa ebibi, waliwo etteeka erikwata ku kusinza. Omusajja bw’abikka ku mutwe ng’asinza, kiba kiswaza Katonda; mukazi bw'atabikka mutwe gwe kiba kiswaza mutwe gwe. (1 Abakkolinso 11:4)
Ku kkanisa egoberera endagaano empya eyateekebwawo Kristo, omukazi abikka ku mutwe gwe n'ekibikako ng’asinza, ate omusajja n’atakikola. Kyokka, oluvannyuma lwa Yesu okulinnya mu ggulu, abakazi abamu bakalambira nti tebalina kwambala bibikka Ku mitwe mu kusinza.
Olw’ensonga eno, Omutume Pawulo yabakubiriza okwambala ebibikkako, ng’annyonnyola nti enviiri empanvu zirabika bulungi eri mukazi mu butonde bw’omuntu.
Musale omusango nammwe mwennyini: kisaanira omukazi okusaba eri Katonda ng'omutwe gwe tegubikidwako? Engeri y'ebintu yennyini tebayigiriza nti omusajja bw'abeera n'enviiri empanvu zimuswaza? Naye omukazi bw'akuza enviiri, kye kitiibwa kye; kubanga enviiri ze zimuweebwa ng'ekibikako. Naye omuntu yenna bw'aba ng'ayagala okuleeta empaka Ku kino, tetulina mpisa ndala, newakubadde ekkanisa za Katonda. 1 Abakkolinso 11:13–16
Baibuli eraga bulungi nti omukazi alina okubikka ku mutwe n'ekibikako ng’asinza. Enkola y’omukazi okwambala ekibikkako mu kiseera ky'okusinza kimu ku biragiro by’endagaano empya Yesu gye yayigiriza era Omutume Pawulo gye yabuulira. Kwagala kwa Katonda okugoberera etteeka ly’okubikka Ku mutwe.
119 Bundang P.O.Box, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of KOREA
Tel 031-738-5999 Fax 031-738-5998
Head Office: 50, Sunae-ro, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of Korea
Main Church: 35, Pangyoyeok-ro, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of Korea
ⓒ World Mission Society Church of God. All rights reserved. Privacy Policy