Nga abatukuvu b’Ekkanisa eyasokawo bwe baakwata
essuubi ly’okuzuukira okuyita mu kuzuukira kwa Yesu
Kristo era nga tebatya bizibu, okuyigganyizibwa,
oba embeera embi ez’ensi eno, n’abatukuvu
b’Ekkanisa ya Katonda bwe batyo
Tebabeerawo ku lw’ebyo ebirabika mu maaso
oba okumala akaseera akayitawo, wabula, babeerawo
n’essuubi ly’okuzuukira nti bajja kubeera mu
mibiri egy’emwoyo mu nsi ey’omwoyo.
Yesu bwe yamala okuzuukira, yabula mangu
ng’anyumya n’abayigirizwa be, mu ngeri
etasuubirwa n’alabika mu kisenge ekyali
kikubiddwako kkufulu, era n’alaga okulinnya
kwe mu maaso gaabwe.
Kino kitegeeza nti naffe, tujja
kuba nga Yesu ku makya g’okuzuukira.
Era waliwo emibiri egy'omu ggulu n'emibiri
egy'omu nsi: naye ekitiibwa eky'egy'omu
ggulu kirala, n'eky'egy'omu nsi kirala. . . .
Oba nga waliwo omubiri gw'omukka,
era waliwo n'ogw'omwoyo.
1 Abakkolinso 15:40–44
119 Bundang P.O.Box, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of KOREA
Tel 031-738-5999 Fax 031-738-5998
Head Office: 50, Sunae-ro, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of Korea
Main Church: 35, Pangyoyeok-ro, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of Korea
ⓒ World Mission Society Church of God. All rights reserved. Privacy Policy