Bwetusisinkana okugezesebwa, ebizibu, era n’omugugu omuzito ogw’omusalaba ku kkubo lyaffe ery’okukkiriza, abo abatwala ebizibu ebyo ng’okubonabona, nga balowooza nti, “Siri wa mukisa,” bajja kubeerera ddala abatali basanyufu, naye abo abategera emikisa era ne bebaza mu mbeera zino bajja kuzuula esanyu era bayingire mu bwakabaka obw’omuggulu.
Kristo Ahnsahnghong ne Katonda Maama bagamba, “Mubeere basanyufu buli kiseera era mwebazenga mu mbeera zonna,” era mutusomese okubeerawo mu bulamu obumativu kubanga omululu gw’ensi guleeta okukemebwa n’obutali busanyufu. Batusomesa okugezaako okwetendeka okubeera abatya Katonda nga bakyuusa embeera yonna etali ya sanyu okufuuka ey’esanyu.
Musanyukenga ennaku zonna; mwebazenga mu kigambo kyonna kyonna, kubanga ekyo Katonda kyabagaliza mu Kristo Yesu gye muli.
1 Abasessaloniika 5:16–18
Alina omukisa omuntu agumiikiriza okukemebwa kubanga bwalimala okusiimibwa aliweebwa engule ey’obulamu, Mukama waffe gye yasuubiza abamwagala. . . . naye buli muntu akemebwa, ng’awalulwa okwegomba kwe n’asendebwasendebwa. Okwegomba okwo ne kulyoka kuba olubuto, ne kuzaala okwonoona; n’okwonoona okwo, bwe kumala okukula, ne kuzaala okufa.
Yakobo1:12–15
119 Bundang P.O.Box, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of KOREA
Tel 031-738-5999 Fax 031-738-5998
Head Office: 50, Sunae-ro, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of Korea
Main Church: 35, Pangyoyeok-ro, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of Korea
ⓒ World Mission Society Church of God. All rights reserved. Privacy Policy