Yesu yayigiriza abantu ng’ayita mu Lugero lw’Omugagga ne Lazaalo nti obulamu ku nsi eno si y’enkomerero. Laazaalo, wadde nga yali mwavu ku nsi, yawangaala ng’omutambuze ng’alina essuubi ery’okugenda mu ggulu era oluvannyuma n’afuna essanyu.
Ate ku ludda olulala, omugagga yawangaala obulamu obw’okwejalabya, naye ng’abeera
nga abundabunda.
Yalemererwa okwetegekera obwakabaka obw’omu ggulu era okukkakkana ng’abonaabona mu geyena.
Kristo Ahnsahnghong ne Katonda Nnyaffe baawa
abantu obujulizi bwa bajjajja b’okukkiriza nga
Ibulayimu ne Musa abaagamba nti, “Ffe
tuli bagwira era batambuze ku nsi eno.”
Okuyita mu biwandiiko bino mu
Baibuli, Batangaaza abantu bonna nti
amaka gaabwe amatuufu mwe balina
okudda bwe bwakabaka obw’omu ggulu.
Abo bonna baafiira mu kukkiriza, nga
tebaweereddwa ebyasuubizibwa, naye nga babirengerera
wala, era nga babiramusa, era nga
baatula nga bagenyi era abatambuze ku nsi.
Abebbulaniya 11:13
Omutima gwammwe tegweraliikiriranga: mukkirize Katonda,
era nange munzikirize.
Mu nnyumba ya Kitange mulimu
ebifo bingi eby'okubeeramu. . . . kubanga ŋŋenda
okubateekerateekera ekifo. . . .
nze gye ndi, nammwe mubeere eyo.
Yokaana 14:1–3
119 Bundang P.O.Box, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of KOREA
Tel 031-738-5999 Fax 031-738-5998
Head Office: 50, Sunae-ro, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of Korea
Main Church: 35, Pangyoyeok-ro, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of Korea
ⓒ World Mission Society Church of God. All rights reserved. Privacy Policy