Olunaku lw’ebibala ebibereberye mu Ndagaano Ekadde lwe lunaku olw’okuzuukira mu Ndagaano empya. Bwe bunabbi obwalina okutuukirizibwa ku Sande.
Lwali ku lunaku olusooka olwa wiiki Abayisiraeli lwe baava e Misiri ne batuuka ku ludda olulala olw’ennyanja emyufu. Katonda yalonda olunaku luno okubeera olunaku olw’ebibala ebibereberye, era Abayisiraeli na bagamba okulukuza nga ku lunaku oludirira Sabbiiti(Sande) buli mwaka. Yesu yazuukira ku lunaku olusooka mu wiiki (Sande), natuukiriza obunabbi bw’olunaku olw’ebibala ebibereberye.
Okusinzira ku bunabbi obw’olunaku olw’ebibala ebibereberye, ekinywa eky’ebikungulwa ebibereberye kyaweebwanga Katonda, Yesu yazuukizibwa nga ebibala ebibereberye ebyaabo abaali beebaka era nawa esuubi ely’okuzuukira eri abantu bona. nga tukiriza kino, Ekkanisa ya Katonda ejjaguza olunaku olw’okuzuukira buli mwaka.
Mukama n’agamba Musa nti, “. . . ne mulyokanga muleeta ekinywa eky’ebibereberye eby’ebikungulwa byammwe eri Kabona. naye anaawuubawuubanga ekinywa mu maaso ga MUKAMA okukkirizibwa ku lwammwe; ku lw’enkya oluddirira sabbiiti kabona kw’anaakiwuubirawuubiranga.”
Ebyabalevi 23:9–11
Awo ku lunaku olw’olubereberye ku nnaku omusanvu, mu matulutulu enkya, ne bajja ku ntaana ne baleeta eby’akaloosa bye bategeka. ne balaba ejjinja nga liyiringisibwa okuva ku ntaana, ne bayingiramu, ne batasanga mulambo gwa mukama waffe Yesu . . . “Kiki ekibanoonyesa omulamu mu bafu? Taliwo wano; naye azuukidde!”
Lukka 24:1–6
119 Bundang P.O.Box, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of KOREA
Tel 031-738-5999 Fax 031-738-5998
Head Office: 50, Sunae-ro, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of Korea
Main Church: 35, Pangyoyeok-ro, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of Korea
ⓒ World Mission Society Church of God. All rights reserved. Privacy Policy