Ebikolwa bya buli muntu, ebiwandiikiddwa mu kitabo eky’obulamu, tebisiimulwamu emyaka ne bwegiyitawo lukumi, naye biramulwa Katonda oba nga bigwaana okudizibwa ebirabo oba okubonerezebwa. Era okusinzira, bajja kwetaba mu kuzuukira kw’abatuukirivu, okujja okubatwaala mu ggulu, oba okuzuukira okw’abonoonyi okujja okubatwala mu geyena.
Abakkiriza ab’ekkanisa eyasooka bafuna eky’okulabirako eky’okuzuukira kwa Yesu era ne banyweera mu kukkiriza kwaabwe. Olwalero, Kristo Ahnsahnghong ne Maama owomuggulu batusomesa okuba n’okukkiriza mu kuzuukira n’okukyuusibwa. Basomesa nti abantu bonna bwe batya Katonda era ne beenenyeza ddala ebibi byaabwe, bajja kukyuusibwa okuda mu mubiri ogw’omwoyo era badeyo mu nsi eyabamalayika.
“Nga nina esuubi eri Katonda era nabo bennyini lye basuubira, nti walibaawo okuzuukira kw’abatuukirivu era n’abatali batuukirivu. Era nnyiikira mu kigambo ekyo okubeeranga n’omwoyo ogutalina musango eri Katonda n’eri abantu ennaku zonna.”
Ebikolwa by’Abatume 24:15–16
Kubanga ffe ewaffe mu ggulu. Era gye tulindirira Omulokozi okuvaayo, Mukama waffe Yesu Kristo, . . . aliwaanyisa omubiri ogw’okutoowazibwa kwaffe okufaananyizibwa ng’omubiri ogw’ekitiibwa kye.
Abafiripi 3:20–21
119 Bundang P.O.Box, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of KOREA
Tel 031-738-5999 Fax 031-738-5998
Head Office: 50, Sunae-ro, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of Korea
Main Church: 35, Pangyoyeok-ro, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of Korea
ⓒ World Mission Society Church of God. All rights reserved. Privacy Policy