Musa Katonda yamuyita okulinnya olusozi
Sinaayi ku lunaku olw’amakumi ana nga
amaze okusomoka Ennyanja Emmyufu.
Mu nkomerero, omulimu gwa Musa gwalaga
nti Kristo yali agenda kulinnya mu
ggulu ku lunaku olw’amakumi ana
oluvannyuma lw’okuzuukira mu bafu.
Eno ye yafuuka ensibuko y’olunaku
lw’okulinnya mu ggulu olwa leero.
kristo Ahnsahnghong ne Katonda Maama bulijjo
batuyigirizza nga bayita mu Baibuli nti abo
abakuuma embaga, amateeka ag’omu ggulu,
bebo abalina obutuuze obw’omu ggulu.
Yesu yennyini yatulaga nti abo abalina
obutuuze obw’omu ggulu bajja kukyusibwa
era bayambalibwe omubiri ogw’ekitiibwa mu kaseera
katono; Yassaawo ekyokulabirako bwe yalinnya mu
ggulu okuva ku lusozi lw’Emizeyituuni.
Kubanga ffe ewaffe mu ggulu; era
gye tulindiririra Omulokozi okuvaayo,
Mukama waffe Yesu Kristo:
aliwaanyisa omubiri ogw'okutoowazibwa kwaffe okufaananyizibwa
ng'omubiri ogw'ekitiibwa kye, ng'okukola okwo bwe
kuli okumuyinzisa n'okussa ebintu byonna wansi we.
Abafiripi 3:20–21
119 Bundang P.O.Box, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of KOREA
Tel 031-738-5999 Fax 031-738-5998
Head Office: 50, Sunae-ro, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of Korea
Main Church: 35, Pangyoyeok-ro, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of Korea
ⓒ World Mission Society Church of God. All rights reserved. Privacy Policy