Olunaku olw’okutangirira lwe lunaku olukulu ebibi byonna eby’abantu ne bakabona lwe bisonyiyibwa. Abayisirayiri beerabira ekisa kya Katonda ne boonoona nga basinzaekifaananyi, ennyana eya zaabu. Eno y’ensonga lwaki Musa yamenyaekibinja ekisooka eky’AmateekaEkkumi Katonda ge yawa. Abayisirayiri beenenya ebibi byabwe era Katonda n’abawa ekibiinja eky’okubiri eky’amateeka ekkumi; olunaku luno lwe lwafuuka ensibuko y’olunaku lw’okutangirira.
Mu ndagaano enkadde, ebibi bya Isiraeri byonna byakyusibwa okumala akaseera ne bitwalibwa e watukuvu okutuusa ku lunaku lw’okutangirira. Leero, ebibi byaffe byonna bitwalibbwa eri KristoAhnsahnghong ne Katonda Maama, nga be bategeeza ekifo ekitukuvu. Olwo, ku lunaku olw’okutangirira, ebibi byaffe byonna bikyusibwa ne biweebwa Sitaani, oyo ye mutandisi w’ekibi. Oluvannyuma, Setaani ajja kusalirwa omusango mu bunnya, kwe kugamba, geyena, era mu kiseera ekyo, ebibi byonna bijja kumaliriza nga biweddewo.
Mukama n'agamba Musa nti Naye ku lunaku olw'ekkumi olw'omwezi ogwo ogw'omusanvu lwe lunaku olw'okutangiririrako: lunaabanga kukuŋŋaana kutukuvu gye muli, nammwe munaabonerezanga obulamu bammwe; era munaawangayo ekiweebwayo ekikolebwa n'omuliro eri Mukama.
Eby’Abaleevi 23:26–27
Olunaku olw'okubiri n'alaba Yesu ng'ajja gy'ali, n'agamba nti Laba, Omwana gw'endiga gwa Katonda, aggyawo ebibi by'ensi!
Yokaana 1:29
N'omulyolyomi eyabalimbanga n'asuulibwa mu nnyanja ey'omuliro n'ekibiriiti, era omuli ensolo ne nnabi ow'obulimba; era banaabonyaabonyezebwanga emisana n'ekiro emirembe n'emirembe.
Okubikkulirwa 20:10
119 Bundang P.O.Box, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of KOREA
Tel 031-738-5999 Fax 031-738-5998
Head Office: 50, Sunae-ro, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of Korea
Main Church: 35, Pangyoyeok-ro, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of Korea
ⓒ World Mission Society Church of God. All rights reserved. Privacy Policy