Okusobola okufuna okusonyiyibwa kw’ebibi, omuntu alina okwetikka ebibi. Katonda yatulaga kino ng’ekisiikirize nga bukyali ng’ayita mu bisolo ebyasaddaaka olw’olunaku lwa Ssabbiiti, ekiweebwayo ekyokebwa ekya bulijjo, Embaga ey’Okuyitako n’embaga endala zonna mu Ndagaano Enkadde, era n’etteeka ly’Endagaano Enkadde nti ku lunaku lw’Okutangirira, ebibi byonna byateekebwa ku mbuzi ey’ekiweebwayo eyasindikibwa mu ddungu n’efa.
Ba Memba b’Ekkanisa ya Katonda bakitegeera nti Katonda yagumira okubonaabona kwonna okw’omusalaba, okusekererwa, n’okunyoomebwa ebitonde bye kubanga kwali kwagala kwa Katonda okunene okw’okwagala okulokola abantu bonna ng’asasula omuwendo \ gw’ebibi byabwe.
Bwe twatula ebibi byaffe, ye wa mazima era omutuukirivu okutusonyiwa ebibi byaffe, n'okutunaazaako byonna ebitali bya butuukirivu. Bwe twetwala nti tetwonoonanga, tumufuula mulimba.
1 Yokaana 1:9–10
[N]ga Omwana w'omuntu bw'atajja kuweerezebwa, wabula okuweereza, n'okuwaayo obulamu bwe ng’okusasulira abangi.”
Matayo 20:28
119 Bundang P.O.Box, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of KOREA
Tel 031-738-5999 Fax 031-738-5998
Head Office: 50, Sunae-ro, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of Korea
Main Church: 35, Pangyoyeok-ro, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of Korea
ⓒ World Mission Society Church of God. All rights reserved. Privacy Policy