Oyo eyagenda mu maaso
ga Kabaka Cyrus n’awangula
abalabe be bonna, Oyo
eyawonya ebigenge bya
Naamani, Oyo eyakuuma
obwakabaka obutono obwa Yuda
obutalumbibwa baserikale 185,000
ab’e Assyria n’amagye
ag’omukago, era Oyo eyawa
eggye lya Yoswa
obuwanguzi mu lutalo
n’Abamaleki ye Katonda
waffe afuga buli kimu
mu nsi etalabika.
Omutume Pawulo yakitegeera
nti omuntu ne bw’asimba
ekirina obulamu, n’akifukirira, n’atteekawo
embeera ekiretera okukula,
tekirina mugaso gwonna
awatali Katonda akuza ebintu.
Mu ngeri y’emu,
ba memba b’Ekkanisa
ya Katonda beesigama ku
Katonda abeera nabo
buli kiseera era abayamba.
Naayimusa amaaso gange
eri ensozi: Okubeerwa
kwange kuliva wa?
Okubeerwa kwange kuva eri
Mukama, Eyakola eggulu n'ensi.
Zabbuli 121:1–2
Mukama bw'atazimba nnyumba,
Abagizimba bakolera bwereere:
Mukama bw'atakuuma kibuga,
Abakuumi bakuumira bwereere.
Zabbuli 127:1
119 Bundang P.O.Box, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of KOREA
Tel 031-738-5999 Fax 031-738-5998
Head Office: 50, Sunae-ro, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of Korea
Main Church: 35, Pangyoyeok-ro, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of Korea
ⓒ World Mission Society Church of God. All rights reserved. Privacy Policy