Enfunda eziwera Katonda yaggumiza eri Yoswa okuba
omuvumu ennyo bwe yatuukira ddala mu maaso
ga Kanani, era n’alagira Yona
okubuulira ekigambo kya Katonda n’obuvumu
mu kibuga ekikulu eky’ensi y’omulabe.
Mu nsonga eno, twetaaga obuvumu
okusinga ekintu ekirala kyonna mu kubuulira
enjiri y’endagaano empya eri ensi yonna.
Olw’okukkiriza nti enjiri ya Katonda ejja
kukyusa ekizikiza okufuuka ekitangaala wonna
w’ebuulirwa, ba memba b’Ekkanisa ya Katonda,
abalina okusikira Kanani ey’omwoyo, batuukiriza
omulimu gwa Yoswa, era nga Yona
bwe yakola, n’obuvumu babuulira amawulire
amalungi ag’obulokozi bwa Kristo Ahnsahnghong
ne Katonda Nnyaffe eri ensi yonna.
“Ddamu amaanyi, guma omwoyo: kubanga ggwe olibasikisa abantu bano ensi eno gye nnalayirira bajjajja baabwe okugibawa. Beera ow'amaanyi era omuvumu ennyo. beera mwegendereza okwekuumanga okukola ng'amateeka gonna bwe gali, Musa, omuweereza wange, ge yakulagira: tokyamanga okugaleka ku mukono ogwa ddyo newakubadde ogwa kkono, olyoke oweebwenga omukisa buli gy'onoogendanga yonna.” Yoswa 1:6–7
119 Bundang P.O.Box, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of KOREA
Tel 031-738-5999 Fax 031-738-5998
Head Office: 50, Sunae-ro, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of Korea
Main Church: 35, Pangyoyeok-ro, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of Korea
ⓒ World Mission Society Church of God. All rights reserved. Privacy Policy