Oluvannyuma lw’okunyumirwa ebintu byonna abantu
b’ensi bye baali baagala, Sulemaani
ku nkomerero yatuuka ku kukomekereza
nti buli kintu ekiri ku nsi
eno tekirina makulu, kugoba mpewo,
era nti abantu balina okutya Katonda
n’okugondera ekigambo kye okusobola okufuna emikisa.
Katonda awa omukisa abo abakwata ebiragiro
bye, n’abateeka waggulu okusinga amawanga gonna.
Nga Kabaka Keezeekiya ne Yosiya
owa maserengeta ga Yuda bwe baaweebwa
omukisa olw’okugondera ekigambo kya Katonda,
Ekkanisa ya Katonda etenderezebwa era
n’egulumizibwa mu nsi yonna nga kivudde
mu kussa mu nkola enjigiriza za
Kristo Ahnsahnghong ne Nnyaffe ow’omu Ggulu.
Awo olunaatuukanga, bw'onoonyiikiranga okuwulira eddoboozi
lya Mukama Katonda wo, okukwata ebiragiro
bye byonna bye nkulagira leero, okubikolanga,
Mukama Katonda wo anaakugulumizanga okusinga
amawanga gonna agali ku nsi:
N'emikisa gino gyonna ginaakujjiranga ginaakutuukangako,
bw'onoowuliranga eddoboozi lya Mukama Katonda wo. . . .
Ekyamateeka 28:1–2
119 Bundang P.O.Box, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of KOREA
Tel 031-738-5999 Fax 031-738-5998
Head Office: 50, Sunae-ro, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of Korea
Main Church: 35, Pangyoyeok-ro, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of Korea
ⓒ World Mission Society Church of God. All rights reserved. Privacy Policy