Mu nnaku bakabaka we baafugiranga, abo
abaali bamenya ekiragiro kya kabaka baasalirwa
ekibonerezo ky’okufa olw’okulya mu nsi olukwe.
Mu ngeri y’emu, kikulu nnyo okugoberera
enjigiriza za Baibuli —ebiragiro bya
Katonda nga ye Kabaka wa bakabaka.
N’olwekyo, Ekkanisa ya Katonda ekuuma
endagaano empya ewandiikiddwa mu Baibuli
ng’olunaku lwa Ssabbiiti n’Okuyitako.
Nga bannabbi bangi nga Dawudi
ne Sulemaani bwe baali baagala
Katonda yekka Yakuwa mu mulembe
gwa Kitaffe, era ng’abatukuvu n’Abatume
b’Ekkanisa eyasoka abaali baagala Yesu
Kristo mu mulembe g’omwana, nga baagala
Kristo Ahnsahnghong ne Katonda Maama mu
emyaka gy’Omwoyo Omutukuvu kye kyama ky’obulokozi.
[K]w'aliraga mu ntuuko zaakwo Nannyini
buyinza yekka atenderezebwa, Kabaka wa
bakabaka, era Mukama w'abaami; . . .
1 Timoseewo 6:15
Okutuusa leero temusabanga kigambo mu linnya
lyange: musabe, muliweebwa, essanyu lyammwe lituukirire.
Yokaana 16:24
Awangula ndimufuula . . . nange ndiwandiika ku
ye erinnya lya Katonda wange, n'erinnya
ly'ekibuga kya Katonda wange, Yerusaalemi
ekiggya, . . . n'erinnya lyange eriggya.
Okubikkulirwa 3:12
119 Bundang P.O.Box, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of KOREA
Tel 031-738-5999 Fax 031-738-5998
Head Office: 50, Sunae-ro, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of Korea
Main Church: 35, Pangyoyeok-ro, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of Korea
ⓒ World Mission Society Church of God. All rights reserved. Privacy Policy