Ba memba ba Sayuuni batenderezebwa olw’ebintu eby’enjawulo bye batuuseeko mu kusoma, emirimu egy’obwannakyewa, n’obulamu obw’okukkiriza, naye ekisinga obukulu mu bo kwe kukkiriza kwabwe mu Kristo Ahnsahnghong ne Katonda Nnyaffe, Ebyama by’obwakabaka obw’omu ggulu.
Nga wayise ebikumi n’ebikumi by’emyaka nga Kabaka Dawudi amaze okufa, nnabbi Ezeekyeri yalagula nti Katonda ajja kujja nga Dawudi n’endagaano empya mu nnaku ez’oluvannyuma.
Kristo Ahnsahnghong, eyajja nga Dawudi ow’omwoyo, yazzaawo Embaga ey’Okuyitako ey’endagaano empya eyaggyibwawo mu mwaka gwa AD 325, era natumanyisa nti tusobola okulokolebwa nga tuzze eri Katonda Nnyaffe, nga ye kituufu ky'endagaano empya.
“ ‘Dawudi omuddu wange ye anaabanga omulangira waabwe emirembe gyonna. Era nate ndiragaana nabo endagaano ey'emirembe, eneebanga ndagaano eteriggwaawo gye bali: . . .
nange nnaabeeranga Katonda waabwe, nabo banaabeeranga bantu bange.’ ”
Ezeekyeri 37:25–27
“Laba, ennaku zijja,” bw'ayogera Mukama, “lwe ndiragaana endagaano empya n'ennyumba ya Isiraeri n'ennyumba ya Yuda: . . .
Nditeeka amateeka gange mu bitundu byabwe eby'omunda, era mu mutima gwabwe mwe ndigawandiikira; nange naabanga Katonda waabwe, nabo banaabanga bantu bange.”
Yeremiya 31:31–33
119 Bundang P.O.Box, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of KOREA
Tel 031-738-5999 Fax 031-738-5998
Head Office: 50, Sunae-ro, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of Korea
Main Church: 35, Pangyoyeok-ro, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of Korea
ⓒ World Mission Society Church of God. All rights reserved. Privacy Policy