Obugagga, ekitiibwa n’amaanyi g’ensi eno tebiwangaala, wabula tebirina mugaso mu maaso g’okufa.
Kale Kristo Ahnsahnghong yatugamba okwetegekera ensi ey’omwoyo omuli essanyu eritaggwaawo.
Kiva ku kuba nti omusingi gwaffe si mubiri gwaffe wabula mwoyo gwaffe (Yokaana 6: 63).
Obulamu obutamanyi ku nsi etaggwaawo tebulina makulu.
Obulamu bwaffe obumpi ku nsi eno kye kiseera okwetegekera ensi etaggwaawo.
Kiki kye tusaanidde okukola okusobola okugenda mu nsi ey’omwoyo etaggwaawo?
Ensi ey’omwoyo ey’olubeerera etaliimu bulumi wadde okufa, (Okubikkulirwa 21:4) omubiri oguvunda teguyinza kuyingira, naye oyo alina obulamu obutaggwaawo yekka asobola. (1Abakkolinso 15:50)
Olwo, tuyinza tutya okufuna obulamu obutaggwaawo?
Bwe tulya omubiri gwa Yesu ne tunywa omusaayi gwe tusobola okufuna obulamu obutaggwaawo. (Yokaana 6:54) Yesu yasuubiza nti omugatti gwe mbaga yo’kuyitako n’omwenge byo gwe mubiri gwe n’omusaayi gwe. (Matayo 26:26)
N’olwekyo abo abafuna obulamu obutaggwaawo nga bayita mu Mbaga ey’Okuyitako basobola okuyingira mu nsi ey’omwoyo, gye bajja okutambula mu bwengula mu ddembe. Ka tutunuulire ensi ey’omwoyo ey’olubeerera, okusinga okwonoona obulamu bwaffe, nga essira tulitadde ku nsi ey’ebintu by'omubiri yokka, era twetabe mu kisuubizo ekitukuvu eky’obulamu obutaggwaawo [Okuyitako].
Ekkanisa ya Katonda Kristo eyajja omulundi ogwokubiri Ahnsahnghong gye yatandikawo y’ekkanisa yokka egoberera Endagaano Empya ey’Okuyitako.
119 Bundang P.O.Box, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of KOREA
Tel 031-738-5999 Fax 031-738-5998
Head Office: 50, Sunae-ro, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of Korea
Main Church: 35, Pangyoyeok-ro, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of Korea
ⓒ World Mission Society Church of God. All rights reserved. Privacy Policy