Abazadde ab’omu ggulu, Kitaffe Ahnsahnghong ne
Katonda Nyaffe, baagala abaana baabwe babeere
n’ebisaanyizo by’okubeera obusaserdooti obw’obwakabaka obw’omu ggulu.
Eno y’ensonga lwaki Baagala Abaana Baabwe
bategeere omugaso gw’obwakabaka obw’omu ggulu
newankubadde nga bayinza okufuna ennaku,
obulumi, n’okubonaabona ku nsi eno.
Buli muntu alina obunafu bwe
wadde bayinza obutabumanyirako ddala.
Katonda alongoosa obunafu bwaffe mu mbeera
ez’enjawulo asobole okutuwa emikisa ku nkomerero.
Bwe kityo, kikulu okugondera ekigambo
kya Katonda atutwala mu bwakabaka
obw’omu ggulu obutaggwaawo.
Kale tufubenga okuyingira mu kiwummulo
ekyo, omuntu yenna aleme okugwa
mu ngeri eyo ey'obutagondera.
Kubanga ekigambo kya Katonda kiramu, era
kikozi, era kisala okusinga buli kitala
kyonna eky'obwogi obubiri, era kiyitamu
n'okwawula ne kyawula obulamu n'omwoyo, ennyingo
n'obusomyo, era kyangu okwawula okulowooza
n'okufumiitiriza okw'omu mutima.
Abebbulaniya 4:11–12
119 Bundang P.O.Box, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of KOREA
Tel 031-738-5999 Fax 031-738-5998
Head Office: 50, Sunae-ro, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of Korea
Main Church: 35, Pangyoyeok-ro, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of Korea
ⓒ World Mission Society Church of God. All rights reserved. Privacy Policy