Katonda yatendeka Abayisirayiri okukwata ebiragiro
bye nga olunaku lwa Ssabbiiti mu ddungu
basobole okukwata amateeka ga Katonda mu Kanani.
Mu ngeri y’emu, Katonda akkiriza
abo Abaluubirira obwakabaka obw’omu ggulu
mu bulamu bwabwe obwa bulijjo okuyiga
olulimi olw’omu ggulu, nga luno lwe
lulimi olw’okwagala, okukkiriza, essuubi, n’obulokozi,
nga tebannayingira mu bwakabaka obw’omu ggulu.
Abo abayogera olulimi olw’omu
ggulu baafuna emikisa gya Katonda .
Yoswa ne Kalebu baayingira mu
Kanani, era mikwano gya Danyeri
abasatu ne bataasibwa okuva eri ekikoomi ekyaka.
Mu ngeri y’emu, abo aboogera olulimi
olw’omu ggulu okusinziira ku njigiriza za
Kristo Ahnsahnghong ne Katonda Maama basobola
okuyingira obwakabaka obw’omu ggulu obutaggwaawo.
Kubanga mu bingi tusobya fenna.
Omuntu yenna bw’atasobya mu kigambo,
oyo ye muntu eyatuukirira, ayinza
okuziyiza era n’omubiri gwe gwonna. . . .
N’olulimi muliro: ensi ey’obubi mu
bitundu byaffe lwe lulimi, olwonoona
omubiri gwonna, era olukoleeza nnamuziga
w’ebitonde byonna, era olukoleezebwa Ggeyeena.
Yakobo 3:2–6
119 Bundang P.O.Box, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of KOREA
Tel 031-738-5999 Fax 031-738-5998
Head Office: 50, Sunae-ro, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of Korea
Main Church: 35, Pangyoyeok-ro, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of Korea
ⓒ World Mission Society Church of God. All rights reserved. Privacy Policy