Abo abakkiriza Katonda balina okukwata Embaga y'ensiisira okusinziira ku njigiriza za Katonda. Kino kiri bwe kityo kubanga Katonda yagamba ng’ayita mu nnabbi Zekkaliya nti agenda kuwa Omwoyo Omutukuvu eri abo abakwata Embaga y'ensiisira n’okuleeta ekibonerezo ku abo abatagikwata.
Mu kujja kwe okwasooka, Yesu yawa Omwoyo Omutukuvu; ku kujja kwe okw’okubiri, Omwoyo n’Omugole bawa Omwoyo Omutukuvu ku Mbaga y'ensiisira. Obunnabbi bwa Baibuli, “Omwoyo n’Omugole bawa amazzi g’obulamu,” “amazzi amalamu galikulukuta okuva mu Yerusaalemi,” ne “Omugga gw’amazzi g’obulamu gukulukuta okuva ku ntebe ya Katonda” bulagula nti Yerusaalemi Nnyaffe ow’omu ggulu ajja kuwa Omwoyo Omutukuvu n’enjigiriza ezituusa mu bulamu.
Naye embaga y'Abayudaaya yali enaatera okutuuka, ye y'ensiisira. Naye ku lunaku olw'enkomerero, lwe lukulu olw'embaga, Yesu yayimirira n'ayogerera waggulu, n'agamba nti... Akkiriza nze, ng'ekyawandiikibwa bwe kigamba nti emigga gy'amazzi amalamu girifuluma mu lubuto lwe. Ekyo yakyogera ku Mwoyo, gwe baali bagenda okuweebwa abamukkiriza... Yokaana 7:2–39
Era Omwoyo n'omugole boogera nti Jjangu. Naye awulira ayogere nti Jjangu. Naye alina ennyonta ajje: ayagala atwale amazzi ag'obulamu buwa. Okubikkulirwa 22:17
119 Bundang P.O.Box, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of KOREA
Tel 031-738-5999 Fax 031-738-5998
Head Office: 50, Sunae-ro, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of Korea
Main Church: 35, Pangyoyeok-ro, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of Korea
ⓒ World Mission Society Church of God. All rights reserved. Privacy Policy